Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Njagala Okukuwa Ekisingayo Obulungi

Njagala Okukuwa Ekisingayo Obulungi

Wanula:

  1. 1. Yakuwa njagala nkuw’e kising’o bulungi.

    Obulamu bwange bwonna njagala nkusanyusenga.

    Ebiri mu Kigambo kyo nja kubibuulira.

    Ekyo kijja kundeetera essanyu lingi nnyo.

    (PRE-CHORUS)

    Buli lukya okukkiriza kwange kweyongera.

    Nja kutuukiriz’o bweyamo, nkuweerezenga.

    (CHORUS)

    Kitange Yakuwa, nkutendereza.

    Mmaliridde okukuweerezanga.

    Nja kukikola n’omutima gwonna.

    Yakuwa, ka nkuw’e kisinga obulungi.

  2. 2. Ab’oluganda bonna nja kubaagalanga.

    Nja kubeera mwetegefu okubaweereza.

    Nja kufuba okuyamba ’bali mu bwetaavu—

    Okugaba kinsanyusa okusing’o kuweebwa.

    (PRE-CHORUS)

    Buli lukya okukkiriza kwange kweyongera.

    Nja kutuukiriz’o bweyamo, nkuweerezenga.

    (CHORUS)

    Kitange Yakuwa, nkutendereza.

    Mmaliridde okukuweerezanga.

    Nja kukikola n’omutima gwonna.

    Yakuwa, ka nkuw’e kisinga obulungi.

    (CHORUS)

    Kitange Yakuwa, nkutendereza.

    Mmaliridde okukuweerezanga.

    Nja kukikola n’omutima gwonna.

    Yakuwa, ka nkuw’e kisinga obulungi.