Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tube ng’Abaana Abato

Tube ng’Abaana Abato

Wanula:

  1. 1. Yesu yatugamba

    Tube nga baana bato.

    Wadde ng’abantu beegulumiza,

    Tetulina kuba nga bo.

    Tetusosola bantu balala–tukoppa Katonda.

    (CHORUS)

    Ka tube nga ’baana bato, twagalane,

    Tunoonye birungi byokka mu bannaffe.

    Ka tube nga baana bato, ab’ekisa,

    Tuleme kukkiriza kweyawulamu.

  2. 2. Nga twetoolooddwa ’bantu

    Abatalina kwagala,

    Kyangu kulowooleza ’balala

    Bintu ’bitali birungi.

    Okwessa wansi w’abalala tekikyasangika.

    (CHORUS)

    Ka tube nga ’baana bato, twagalane,

    Tunoonye birungi byokka mu bannaffe.

    Ka tube nga baana bato, ab’ekisa,

    Tuleme kukkiriza kweyawulamu.

    Tube ng’abaana.

    (BRIDGE)

    Nga tweyongera

    Okuweereza,

    Katonda waffe

    Mu nsi erimu

    Abantu bangi

    Abeegulumiza,

    Tulina o-kuba nga ’baana.

    (CHORUS)

    Ka tube nga ’baana bato, twagalane,

    Tunoonye birungi byokka mu bannaffe.

    Ka tube nga baana bato, ab’ekisa,

    Tuleme kukkiriza kweyawulamu.

    Tube ng’abaana.