Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omu Mu Bangi

Omu Mu Bangi

Wanula:

  1. 1. Ggwe wange,

    Omu mu bangy’e nnyo.

    Gwe wekka

    Kabiite wange.

    Engeri zo ezo

    Zindeeter’e ssanyu.

    Omukwano

    Gwaffe munywevu nnyo.

    Kub’o mbeererawo

    Er’o mp’e kitiibwa.

    Ekyo kinsanyusa;

    Era nkwagala nnyo.

    (CHORUS)

    Ye ggwe wange nze wuwo;

    Ffe tuli muntu omu.

    Yakuwa yakumpa nga ekirabo—

    Ggwe mu bangi

  2. 2. Mulungi wange;

    Ggwe ompuliriza.

    Era ffembi

    Tuwerereza wamu.

    Ondag’o kwagala

    Era onfaako nnyo.

    Ggwe omu mu bangi

    Gwe njagal’e nnyo.

    (CHORUS)

    Ye ggwe wange nze wuwo;

    Ffe tuli muntu omu.

    Yakuwa yakumpa nga ekirabo—

    Ggwe mu bangi.

    Ye ggwe wange ze wuwo;

    Ffe tuli muntu omu.

    Yakuwa yakumpa nga ekirabo—

    Ggwe mu bangi,

    Ggwe mu bangi,

    Mukwano