Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yigira ku Nsobi

Yigira ku Nsobi

Wanula:

  1. 1. ’Ssanyu likuweddeko,

    Lw’ensobi gye wakola

    Naye jjukira,

    Teriiy’a ’tasobyangako.

    Kati kye kiseera

    Obeeko ky’okolawo:

    Kkiriz’o kuyambibwa,

    Er’o ’yigire ne ku nsobi yo.

    (CHORUS)

    Weekube mu kifuba.

    Weenenye okyuke.

    Yimuka we wagwa.

    Yigira ku nsobi.

    Kkiriza Yakuwa

    Akuyamb’o ‘kuyimuka.

    Awo ’jja kuddamu

    ’Kubeera omunywevu

    Sing’o ’nookyusaamu.

  2. 2. Buli lunakw’o lukya

    Ob’o ’lumirizibwa.

    Naye eby’emabega

    Toyinza bbikyusa.

    Tobyemalirako.

    Tunuulira Yakuwa.

    Ayagal’o kukuyamba,

    Akulage ky’olin’o kukola.

    (CHORUS)

    Weekube mu kifuba.

    Weenenye okyuke.

    Yimuka we wagwa.

    Yigira ku nsobi.

    Kkiriza Yakuwa

    Akuyamb’o ‘kuyimuka.

    Awo ’jja kuddamu

    ’Kubeera omunywevu.

    (BRIDGE)

    Ye Yakuwa mwetegefu

    Okkusonyiw’e ’nsobi yo.

    ‘Asing’e mitima gyaffe,’

    Kijjukire.

    Ggwe kyusaamu.

    (CHORUS)

    Weekube mu kifuba.

    Weenenye okyuke.

    Yimuka we wagwa.

    Yigira ku nsobi.

    Kkiriza Yakuwa

    Akuyamb’o ‘kuyimuka.

    Awo ’jja kuddamu

    ’Kubeera omunywevu

    Sing’o n’okyusaamu.

    Kale ggwe kyusaamu.