Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakuwa Ali Wamu Nange

Yakuwa Ali Wamu Nange

Wanula:

  1. 1. Olwa leero nkedde ne nneetegeka.

    Nsabye nnyo Yakuwa okunnyamba.

    Bantiisatiisa nnyo. Naye mmwesize,

    Nja kugondera Ye, so si bantu.

    (CHORUS)

    Mmanyi nty’a li nange, era nnin’e ’mirembe. Sitya.

    Ali ku ludda lwange, lwe lwazi lwange.

    Ali ku ludda lwange, tewali kye ntya.

  2. 2. Bwe ndowooza ku bantu be nsanze,

    Nkiraba nti bangy’a ’beetaaga ‘mazima.

    Ŋŋenda kufuba; Yakuwa mp’o myoyo gwo.

    Nsobol’o ’kwongera okubuulira.

    (CHORUS)

    Mmanyi nty’a li nange, era nnin’e ’mirembe. Sitya.

    Ali ku ludda lwange, lwe lwazi lwange.

    Ali ku ludda lwange, tewali kye ntya.

    (BRIDGE)

    Ne bwe kinaaba ki, nze sikitidde,

    Ka mbe mugumu, mbe muvumu.

    Sitiitidde, ka nneesige Ye,

    Yakuwa ali nange, nnaatya ki?

    Nja kumanyis’e kitiibwa kye,

    Erinnya lye, n’ettendo lye.

    Nja kukuum’o bwesigwa bulijjo,

    Mmanyi n’ens’ empya esembedde.

  3. 3. Ebinaabaaw’e nkya, tebintiisa.

    Mmanyi Yakuwa tonjabulira.

    Ne bwe banansiba, ggwe nneesize,

    Ab’a bantw’o buntu, tebankanga.

    (CHORUS)

    Mmanyi nty’a li nange, era nnin’e ’mirembe, nze sitya.

    Ali ku ludda lwange, lwe lwazi lwange.

    Ali ku ludda lwange, tewali kye ntya.