Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okulwanyisa Ekizibu ky’Obutaba na Ssuubi

Okulwanyisa Ekizibu ky’Obutaba na Ssuubi

Okulwanyisa Ekizibu ky’Obutaba na Ssuubi

EBIZIBU by’oyolekagana nabyo mu bulamu obitwala otya? Abakugu bangi bagamba nti engeri omuntu gy’addamu ekibuuzo ekyo eyinza okulaga obanga alina essuubi, oba aweddemu essuubi. Ffenna twolekagana n’ebizibu mu bulamu, era abamu bafuna ebizibu eby’amaanyi okusinga abalala. Naye lwaki abamu bwe bafuna ebizibu basigala balina essuubi, ate ng’abalala baggwaamu essuubi ne bwe kiba nti ebizibu bye bafunye si bya maanyi nnyo?

Okugeza, ka tugambe nti onoonya omulimu. Ogenda okukola yintaviyu naye n’otafuna mulimu. Ekyo ekiba kikutuuseeko, oluvannyuma okitwala otya? Kiyinza okukuyisa obubi ennyo, era n’ogamba nti, ‘Tewali ayinza kukozesa muntu nga nze. Sirifuna mulimu.’ Oba n’ekisinga obubi, oyinza okuleka ekintu ekyo ekimu ekibaddewo, okukwerabiza ebirungi byonna ebibaddewo mu bulamu bwo. N’ogamba nti, ‘Nze nnalemererwa. Sirina mugaso.’ Endowooza ng’eyo eba eraga nti oweddemu essuubi.

Engeri gy’Oyinza Okweggyamu Endowooza Ezikumalamu Essuubi

Oyinza otya okulwanyisa endowooza ezikumalamu essuubi? Ekisooka, kwe kukimanya nti olina endowooza ng’ezo. Eky’okubiri, kwe kuzeggyamu. Beera n’endowooza ennuŋŋamu. Ng’ekyokulabirako, ddala kituufu nti tewafunye mulimu olw’okuba tewali ayinza kukuwa mulimu? Oba kisoboka okuba nti baabadde banoonya omuntu alina ebisaanyizo eby’enjawulo ku bibyo?

Lowooza ku bintu ebirala ebirungi by’otuuseeko mu bulamu bwo kikusobozese okweggyamu endowooza ezitali nnuŋŋamu ezikumalamu essuubi. Ddala okugenda okunoonya omulimu n’otagufuna kitegeeza nti tolina kalungi konna mu bulamu bwo? Osobola okulowooza ku birungi by’otuuseeko mu bulamu bwo, gamba ng’ebiruubirirwa eby’omwoyo by’otuuseeko, enkolagana gy’olina n’ab’omu maka go, oba ne mikwano gyo. Weewale okulowooza nti ekizibu ky’olina tekijja kuvaawo. Ng’ekyokulabirako, ddala kituufu nti tolifuna mulimu? Waliwo bingi by’osobola okukola okwewala endowooza ezisobola okukuleetera okuggwaamu essuubi.

Beera n’Endowooza Ennuŋŋamu, era Beera n’Ekiruubirirwa

Ka twetegereze engeri abanoonyereza gye bannyonnyolamu essuubi. Bagamba nti, okuba n’essuubi kwe kuba ng’osuubira nti ojja kutuuka ku biruubirirwa byo. Nga bwe tugenda okulaba mu kitundu ekiddako, okuba n’essuubi kisingawo ku ekyo. Naye ennyinnyonnyola eyo ya muganyulo mu ngeri ezitali zimu. Okutunuulira essuubi mu ngeri eyo kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okweteerawo ebiruubirirwa.

Bwe tuba ab’okuba n’essuubi nti tusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe eby’ebiseera eby’omu maaso, tuba twetaaga okuyiga okweteerawo ebiruubirirwa, n’okufuba okubituukako. Bw’oba tolina biruubirirwa ng’ebyo, lowooza ku biruubirirwa by’osobola okweteerawo. Olinayo ekiruubirirwa kyonna kye weeteerawo? Kyangu nnyo okubeera awo nga tukola ebintu bye bimu buli lunaku nga tetulina kintu kisinga bukulu gye tuli kye twagala kutuukako mu bulamu. Ku bikwata ku ky’okweteerawo ebiruubirirwa mu bulamu, Bayibuli egamba nti: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’​—Abafiripi 1:10.

Bwe tweteerawo ebiruubirirwa, kiba kyangu okussa essira ku bintu ebisinga obukulu mu bulamu. Gamba nga ku nkolagana yaffe ne Yakuwa, ab’omu maka gaffe, ne ku ngeri y’okweyimirizaawo. Kyokka kiba kirungi obuteeteerawo biruubirirwa bingi mu kusooka, era ne tweteerawo ebyo bye tusobola okutuukako amangu. Ekiruubirirwa bwe kiba ekizibu okutuukako, tuyinza okuggwaamu amaanyi. N’olwekyo, bwe tuba n’ekiruubirirwa nga kijja kututwalira ekiseera kiwanvu okukituukako, tuyinza okukigabanyaamu ebiruubirirwa ebitonotono bye tusobola okutuukako amangu.

Olugero olugamba nti “akwata empola atuuka wala,” lutuufu nnyo. Bwe tuba nga tulina ebiruubirirwa bye tweteereddewo, kitwetaagisa okuba abagumiikiriza era abamalirivu okusobola okubituukako. Ekirala ekisobola okutuyamba, kwe kufumiitiriza ku bukulu bw’ebiruubirirwa byaffe era n’emiganyulo gye tujja okufuna nga tubituuseeko. Kyo kituufu nti wajja kubaawo ebisoomooza, naye tetusaanidde kukitwala nti tuba tulemereddwa.

Kyokka tusaanidde okulowooza ku bintu ebitali bimu bye tusobola okukola okusobola okutuuka ku biruubirirwa byaffe. Omuwandiisi omu ayitibwa C. R. Snyder, eyanoonyereza ennyo ku miganyulo egiri mu kuba n’essuubi agamba nti, kikulu okulowooza ku ngeri ez’enjawulo ze tuyinza okuyitiramu okutuuka ku kiruubirirwa kye tuba tweteereddewo. Engeri emu bw’etakola, tuyinza okugezaako engeri ey’okubiri, oba ey’okusatu.

Snyder era agamba nti, kikulu okumanya ddi lwe tusaanidde okuleka ekiruubirirwa ekiba kitulemye okutuukako, ne tugezaako ekirala. Bwe tulaba nga ddala tulemereddwa okutuuka ku kiruubirirwa ekimu, okukiremerako kiyinza okutumalamu amaanyi. Ku luuyi olulala, bwe tuleka ekiruubirirwa ekiba kitulemye okutuukako ne tugezaako ekirala, tetuggwaamu ssuubi.

Bayibuli erimu ekyokulabirako ekirungi ekikwata ku nsonga eyo. Kabaka Dawudi yayagala nnyo okuzimbira Katonda we Yakuwa, yeekaalu. Naye Katonda yagamba Dawudi nti enkizo eyo yali agenda kugiwa mutabani wa Dawudi ayitibwa Sulemaani. Mu kifo kya Dawudi okulemera ku kuzimba yeekaalu oba okuggwaamu amaanyi, yakyusa ebiruubirirwa bye. Yatandika okukuŋŋaanya ssente n’eby’okukozesa ebirala mutabani we bye yandikozesezza okuzimba yeekaalu eyo.​—1 Bassekabaka 8:17-19; 1 Ebyomumirembe 29:3-7.

Ne bwe tuba nga tufubye okwewala ebintu ebitumalamu essuubi, era nga tufubye okuba n’endowooza ennuŋŋamu n’okweteerawo ebiruubirirwa, era wayinza okubaawo ebintu ebitumalamu amaanyi. Lwaki? Kubanga ebintu ebisinga obungi ebimalamu essuubi ebiri mu nsi, tetubirinaako buyinza. Naye tuyinza tutya okusigala nga tulina essuubi, wadde nga waliwo ebizibu, gamba ng’obwavu, entalo, obutali bwenkanya, endwadde, n’okufa?

[Ekifaananyi]

Bw’ogenda okusaba omulimu ne batagukuwa, okitwala nti tolifuna mulimu?

[Ekifaananyi]

Kabaka Dawudi yakiraga nti yalina endowooza ennungi bwe yakyusa ebiruubirirwa bye