Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enkobyokkobyo Ezibeera mu Mambuka g’Ensi

Enkobyokkobyo Ezibeera mu Mambuka g’Ensi

OKUMALA ekiseera kiwanvu, kyali kirowoozebwa nti obunyonyi obuyitibwa enkobyokkobyo obubeera mu mambuka g’ensi bubuuka olugendo lwa mayiro 22,000 okuva mu mambuka g’ensi okutuuka mu maserengeka g’ensi n’okuddayo. Naye okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko awo kwalaga nti obunyonyi obwo bubuuka olugendo luwanvu nnyo n’okusingawo.

Nga bwe kiragiddwa ku mmaapu, enkobyokkobyo zibuuka zikuba amakoona

Obuuma obutono bannassaayansi bwe bakozesa okumanya ensolo oba ekinyonyi we kiba kiri bwateekebwa ku bunyonyi obwo obuwerako. Bannassaayansi bwe baalondoola enkobyokkobyo ezo baakizuula nti okutwaliza awamu ezimu ku zo zaabuuka olugenda lwa mayiro 56,000 amagenda n’amadda, era nga luno lwe lugendo olukyasinzeeyo obuwanvu ebinyonyi oba ensolo ebitambula eŋŋendo empanvu lwe zaali zitambudde. Enkobyokkobyo emu yabuuka olugendo lwa mayiro nga 60,000! Lwaki bannassaayansi baddamu okunoonyereza ku lugendo obunyonyi obwo lwe bubuuka?

Ka bube wa we bwatandikira okubuuka, obunyonyi obwo tebwagenda butereevu. Nga bwe kiragibwa ku mmaapu, bwagenda bukuba amakoona nga buyita waggulu w’oguyanja Atlantic. Lwaki bubuuka butyo? Obunyonyi obwo bubuuka bweyambisa empewo eri ku guyanja ogwo.

Mu bbanga ery’emyaka 30 enkobyokkobyo ezo lye zimala nga nnamu zibuuka olugendo lwa mayiro ezisukka mu kakadde kamu n’ekitundu. Olugendo olwo lwenkanankana n’okugenda ku mwezi n’okudda emirundi esatu oba ena! Munnassaayansi omu yagamba nti: “Ekyo kyewuunyisa nnyo nnaddala bw’olowooza ku ky’okuba nti akanyonyi ako kazitowa gramu nga 100 zokka.” Ate era okuva bwe kiri nti enkobyokkobyo ebeera mu mambuka ne mu maserengeka g’ensi mu biseera by’omusana, ekitabo ekiyitibwa Life on Earth: A Natural History kigamba nti: “Enkobyokkobyo ezo bye biramu ebisingayo okubeera mu budde obw’ekitangaala.”