Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Erinnya lya Katonda mu nnukuta ennya ez’Olwebbulaniya olw’edda lisangibwa emirundi mingi mu biwandiiko bya Bayibuli ebyasooka

BAYIBULI KY’EGAMBA

Erinnya lya Katonda

Erinnya lya Katonda

Abantu bukadde na bukadde bwe baba boogera ku Katonda bakozesa ebitiibwa gamba nga Mukama, Oyo Abeerawo Emirembe n’Emirembe, Allah, oba Katonda. Naye Katonda alina erinnya. Osaanidde okulikozesa?

Erinnya lya Katonda y’ani?

ABAMU KYE BAGAMBA

 

Abantu bangi abeeyita Abakristaayo bagamba nti erinnya lya Katonda ye Yesu. Abalala bagamba nti olw’okuba waliwo Katonda omu Omuyinza w’ebintu byonna tekyetaagisa kukozesa linnya lye. Ate abalala bagamba nti bwe tukozesa erinnya lya Katonda tuba tetumussizzaamu kitiibwa.

BAYIBULI KY’EGAMBA

 

Erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebintu byonna si ye Yesu, kubanga Yesu si ye Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. Mu butuufu, Yesu yagamba abagoberezi be okusaba Katonda nti: “Kitaffe, erinnya lyo litukuzibwe.” (Lukka 11:2) Ne Yesu kennyini yasaba Katonda n’agamba nti: “Kitange, gulumiza erinnya lyo.”​Yokaana 12:28.

Mu Bayibuli, Katonda agamba nti: “Nze Yakuwa. Eryo lye linnya lyange; ekitiibwa kyange sirina mulala gwe nkiwa.” (Isaaya 42:8) Erinnya “Yakuwa” livvuunulwa okuva mu nnukuta nnya ez’Olwebbulaniya YHWH, ezikiikirira erinnya lya Katonda. Erinnya eryo lisangibwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya emirundi nga 7,000. * Erinnya eryo lirabika emirundi mingi mu Bayibuli okusinga ebitiibwa, nga “Katonda,” “Omuyinza w’Ebintu Byonna,” oba “Mukama,” era lirabika emirundi mingi okusinga amannya amalala gonna, gamba nga Ibulayimu, Musa, ne Dawudi.

Bayibuli terina w’eragira nti Katonda yagaana abantu okukozesa erinnya lye mu ngeri esaana. Mu kifo ky’ekyo Bayibuli eraga nti abaweereza ba Katonda ab’edda baakozesanga erinnya lya Katonda. Amannya ge baatuumanga abaana baabwe gaalina akakwate n’erinnya Yakuwa. Ng’ekyokulabirako, erinnya Eriya litegeeza nti, “Katonda Wange Ye Yakuwa,” ate erinnya Zekkaliya litegeeza nti “Yakuwa Ajjukidde.” Era abantu ba Katonda baakozesanga erinnya lya Katonda ne mu mbeera zaabwe eza bulijjo.​—Luusi 2:4.

Katonda ayagala tukozese erinnya lye. Bayibuli etukubiriza ‘okwebaza Yakuwa n’okukoowoola erinnya lye.’ (Zabbuli 105:1) Yakuwa yeetegereza abo “abalowooza ku linnya lye.”​—Malaki 3:16.

“Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa, ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.”​—Zabbuli 83:18.

Erinnya lya Katonda lirina makulu ki?

Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti erinnya Yakuwa mu Lwebbulaniya litegeeza “Aleetera Ebintu Okubaawo.” Ebigambo ebyo biraga nti Katonda asobola okubeera kyonna ky’ayagala oba okuleetera ebitonde bye okubeera kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Omuyinza w’ebintu byonna yekka y’asobola okukola ekyo era yekka y’agwanidde okuyitibwa Yakuwa.

ENGERI GYE KIKUGANYULAMU

 

Okumanya erinnya lya Katonda kijja kukyusa engeri gy’omutwalamu. Kijja kukwanguyira okuba mukwano gwe. Ekyo kiri kityo kubanga kiba kizibu okuba mukwano gw’omuntu gw’otomanyi linnya. Okuba nti Katonda akutegeeza erinnya lye mu Kigambo kye Bayibuli, kiraga nti ayagala obeere mukwano gwe.​—Yakobo 4:8.

Yakuwa bulijjo atuukana n’amakulu g’erinnya lye kubanga byonna by’asuubiza abituukiriza. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli egamba nti: “Abo abamanyi erinnya lyo banaakwesiganga.” (Zabbuli 9:10) Bw’olaba engeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri ze, gamba ng’okwagala, ekisa, obusaasizi, n’obwenkanya, kikuleetera okumwesiga. (Okuva 34:5-7) Nga kitusanyusa nnyo okuba nti Yakuwa ayoleka engeri ennungi bwe zityo n’okuba nti bulijjo atuukiriza ebisuubizo bye.

Mazima ddala nkizo ya maanyi okumanya erinnya lya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna. Okumanya erinnya lya Katonda kijja kukusobozesa okufuna emikisa mu kiseera kino ne mu biseera ebijja mu maaso. Katonda agamba nti: “Ndimukuuma kubanga amanyi erinnya lyange.”​—Zabbuli 91:14.

“Buli muntu alikoowoola erinnya lya Yakuwa alirokolebwa.”​—Yoweeri 2:32.

Erinnya lya Katonda mu nnimi ez’enjawulo

^ lup. 9 Mu nzivuunula za Bayibuli nnyingi baggya erinnya lya Katonda mu bifo mwe lirina okubeera ne bassaawo ekitiibwa “Mukama,” ate mu nzivuunula endala baalissa mu nnyiriri zimu na zimu oba mu bugambo obuli wansi. Enkyusa ey’Ensi Empya eteeka erinnya lya Katonda mu bifo byonna mwe lirina okubeera.