Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tekinologiya Akutte Atya ku Mikwano Gyo?

Tekinologiya Akutte Atya ku Mikwano Gyo?

Olwa tekinologiya aliwo, kati abantu babiri basobola okuwuliziganya wadde nga bali mu nsi za njawulo. Basobola okweweereza mesegi, oba n’okwogera nga buli omu alaba munne.

Kyokka abantu abamu abakozesa ennyo tekinologiya okuwuliziganya n’abalala batera . . .

  • obutalumirirwa mikwano gyabwe.

  • obutaba bamativu.

  • okwefaako bokka.

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

OKULUMIRIRWA ABALALA

Okusobola okulaga nti tulumirirwa omuntu, kiba kitwetaagisa okuwaayo ebiseera okumanya engeri gye yeewuliramu. Ekyo kiyinza okuba ekizibu okukola nga tusoma oba nga tuddamu mesegi ennyingi eziba zituweerezeddwa.

Bw’oba ne mesegi ennyingi ez’okuddamu, kiba kizibu okulaba mesegi ya mukwano gwo ayinza okuba nga yeetaaga obuyambi. Ebirowoozo byo biba ku kuddamu mesegi zonna.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Oyinza otya okulaga nti olumirirwa mikwano gyo ng’okozesa tekinologiya okuwuliziganya nabo?​—1 PEETERO 3:8.

OBUTABA MUMATIVU

Okunoonyereza okumu kwalaga nti abantu bangi baawulira bubi oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga bali ku mikutu emigattabantu. Abaakola okunoonyereza okwo baagamba nti oluvannyuma lw’omuntu okutunuulira ebifaananyi n’ebyo abalala bye baba batadde ku mikutu egyo, “asigala awulira nga si mumativu.”

Ate era, okutunuulira ebifaananyi abalala bye baba batadde ku mikutu egyo kiyinza okukuleetera okutandika okwegeraageranya nabo. Oyinza okutandika okulowooza nti abantu abalala bonna basanyufu era banyumirwa obulamu, ate nga ggwe toli musanyufu.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Bw’oba ng’okozesa emikutu emigattabantu, oyinza otya okwewala okwegeraageranya n’abalala?​—ABAGGALATIYA 6:4.

OKWEFAAKO WEKKA

Omusomesa omu agamba nti abayizi be baali baagala okukola emikwano n’abo bokka abasobola okubaako bye babakolera? Abantu ng’abo baba beefaako bokka, era basobola okutandika okutwala mikwano gyabwe ng’essimu oba kompyuta gye basobola okukozesa ekiseera kyonna we baba baagalidde.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Ebyo by’oteeka ku mukutu omugattabantu biraga nti oyagala nnyo okuvuganya n’abalala?​—ABAGGALATIYA 5:26.

KY’OYINZA OKUKOLA

LOWOOZA KU NGERI GY’OKOZESAAMU TEKINOLOGIYA

Tekinologiya bw’aba nga si y’akufuga, kikusobozesa okuwuliziganya ne mikwano gyo era n’okwongera okunyweza enkolagana yo nabo.

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okwagala . . . tekwenoonyeza byakwo.”​—1 ABAKKOLINSO 13:4, 5.

Laba amagezi g’osobola okukolerako, oba wandiika by’osobola okukola.

  • Fuba okwogera obutereevu ne mikwano gyo (mu kifo ky’okubasindikira mesegi zokka)

  • Ggyawo essimu oba ggyako eddoboozi lyayo bw’oba onyumya n’abalala

  • Kendeeza ku budde bw’omala ku mikutu emigattabantu

  • Bw’oba onyumya n’abalala, fuba okubawuliriza

  • Mukwano gwo bw’aba ng’alina ekizibu, yogera naye butereevu