Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Tekinologiya Akutte Atya ku Ngeri gy’Ossaayo Omwoyo?

Tekinologiya Akutte Atya ku Ngeri gy’Ossaayo Omwoyo?

Abantu beetaaga okuyiga ebintu bingi, ka kibe ku ssomero, ku mirimu, oba mu bintu ebirala. Tekinologiya asobola okubayamba mu nsonga eyo. Kati kyangu nnyo okuyiga ebintu ebitali bimu nga tovudde waka, oba nga tosituse na mu ntebe yo.

Kyokka bangi ku abo abakozesa ennyo tekinologiya, bakizudde nti . . .

  • kibazibuwalira okussaayo omwoyo ku bye baba basoma.

  • bawugulibwa mangu ne bava ku ekyo kye baba.

  • bawulira mangu ekiwuubaalo.

KY’OSAANIDDE OKUMANYA

OKUSOMA

Abamu bayitaayita mangu mu bye basoma mu kifo ky’okusoma mpolampola nga bwe bafumiitiriza ku ebyo omuwandiisi bye yali ategeeza.

Okuyitaayita mu bwangu mu by’osoma si kibi bw’oba ng’oyagala kufuna mangu ky’onoonya. Naye kiyinza okukulemesa okutegeera obulungi ensonga, bw’eba nga yeetaagisa okwekenneenya n’obwegendereza.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Kikwanguyira okusoma ebintu ebingi? Lwaki okusoma ebintu n’obwegendereza kiyamba nnyo mu kuyiga?​—ENGERO 18:15.

OKUSSAAYO OMWOYO

Abantu abamu balowooza nti tekinologiya abasobozesa okukola ebintu bingi mu kiseera kye kimu. Ng’ekyokulabirako, baweereza mikwano gyabwe mesegi ng’eno bwe basoma ebitabo. Naye bwe bakola ebintu bingi mu kiseera kye kimu, byonna tebabikola bulungi naddala bwe kiba nti byonna byetaagisa okussaayo omwoyo.

Kyetaagisa okwefuga okusobola okussaayo omwoyo ku kintu, naye ebivaamu biba birungi. Omuvubuka ayitibwa Grace agamba nti: “Okola ensobi ntono, era teweemalaako mirembe. Njize nti kirungi okukola ekintu kimu kimu mu kifo ky’okukola ebintu bingi mu kiseera kye kimu. “

EKY’OKULOWOOZAAKO: Okukola ebintu bingi mu kiseera kye kimu kikulemesa okussaayo omwoyo n’okujjukira by’oba osomye?​—ENGERO 17:24.

BW’OBA WEKKA

Abantu abamu bwe babeera bokka mu kifo ekisirifu, bafuna ekiwuubaalo ne basalawo okukozesa essimu oba kompyuta okwemalako ekiwuubaalo. Omukyala ayitibwa Olivia agamba nti: “Bwe ntuula okumala eddakiika 15 nga sikebedde ku ssimu yange oba nga sitaddeeko Ttivi, mpulira nga mpuubadde.”

Omuntu bw’afunayo ekiseera n’abaako yekka, kimuyamba okufumiitiriza era ng’okufumiitiriza kuyamba abato n’abakulu okuyiga ebintu ebitali bimu.

EKY’OKULOWOOZAAKO: Bw’oba wekka, okozesa ekiseera ekyo okufumiitiriza?​—1 TIMOSEEWO 4:15.

KY’OYINZA OKUKOLA

LOWOOZA KU NGERI GY’OKOZESAAMU TEKINOLOGIYA

Oyinza otya okukozesa tekinologiya mu ngeri ekuyamba okuyiga okufumiitiriza? Engeri gy’okozesaamu tekinologiya, eyinza etya okukulemesa okussaayo omwoyo n’okuyiga?

AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Amagezi n’obusobozi bw’okulowooza obulungi tobiganyanga kukuvaako.”​—ENGERO 3:21.