Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli

Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli

Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli

KINO kitabo eky’engero ezaaliwo ddala. Ziggiddwa mu kitabo ekisingayo obukulu mu nsi yonna, Baibuli. Engero zino zikulaga ebyafaayo by’ensi okuva Katonda bwe yatandika okutonda, okutuuka mu kiseera kyaffe. Zoogera ku ekyo Katonda ky’asuubiza okukola mu biseera eby’omu maaso.

Ekitabo kino kikuwa ekifaananyi ku biri mu Baibuli. Kyogera ku bantu b’omu Baibuli ne bye baakola. Era kyogera ku ssuubi ery’ekitalo ery’obulamu obutaggwaawo mu lusuku lwa Katonda ku nsi Katonda ly’awadde abantu.

Ekitabo kirimu engero 116. Zaawuddwamu ebitundu munaana. Olupapula olusooka ku buli kitundu, lulaga mu bufunze ebikirimu. Engero zisengekeddwa ng’ebintu bwe byajja biddiŋŋana mu byafaayo. Kino kikuyamba okuyiga ddi, ng’ogeraageranya n’ebintu ebirala ebyaliwo, ebintu ebyobwe byabaawo mu byafaayo.

Engero zinnyonnyoddwa mu lulimi olugonvu. Bangi ku mmwe abaana abato mujja kusobola okuzeesomera mwekka. Mmwe abazadde mujja kukivumbula nti abaana bammwe abato bajja kwagala nnyo mubasomere engero zino emirundi n’emirundi. Ojja kukisanga nti ekitabo kino kirimu ebinyumira abato n’abakulu.

Ebyawandiikibwa ebijuliziddwa mu Baibuli biweereddwa ku buli nkomerero y’olugero. Okubirizibwa okusoma ebitundu bya Baibuli ebyo engero kwe zeesigamiziddwa. Bw’omala okusoma buli lugero, ddamu ebibuuzo by’olugero olwo ebiri ku mpapula eziri emabega w’olugero 116 olabe oba ng’okyajjukira by’osomye.