Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okutonda Okutuuka ku Mataba

Okutonda Okutuuka ku Mataba

EKITUNDU 1

Okutonda Okutuuka ku Mataba

Eggulu n’ensi byava wa? Enjuba, omwezi n’emmunyeenye, n’ebintu ebirala ebingi ku nsi, byajjawo bitya? Baibuli ewa eky’okuddamu ekituufu bw’egamba nti byatondebwa Katonda. N’olwekyo, ekitabo kyaffe kitandika n’engero za Baibuli ezikwata ku kutonda.

Tuyiga nti ebitonde bya Katonda ebyasooka baali bantu ab’omwoyo abafaanana nga ye. Baali bamalayika. Naye ensi yatonderwa bantu nga ffe. N’olwekyo Katonda yakola omusajja n’omukazi abayitibwa Adamu ne Kaawa, era n’abateeka mu lusuku olulabika obulungi ennyo. Naye baajeemera Katonda era ne bafiirwa enkizo ey’okusigala nga balamu.

Okuva ku kutondebwa kwa Adamu okutuuka ku Mataba ag’amaanyi, waayitawo emyaka 1,656. Mu kiseera kino, waabeerawo abantu ababi bangi. Mu ggulu, waaliyo abantu ab’omwoyo abatalabika, Setaani ne bamalayika be ababi. Ku nsi, kwaliko Kayini era n’abantu abalala ababi bangi, nga mw’otwalidde n’abantu ab’amaanyi ennyo. Naye era waaliwo n’abantu abalungi ku nsi—Abeeri, Enoka ne Nuuwa. Mu Kitundu EKISOOKA, tujja kusoma ku bantu bano bonna n’ebintu ebyabaawo.