Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Katonda Atandika Okutonda Ebintu

Katonda Atandika Okutonda Ebintu

OLUGERO 1

Katonda Atandika Okutonda Ebintu

EBINTU byonna ebirungi bye tulina biva eri Katonda. Yatonda enjuba okutuwa ekitangaala emisana, era n’omwezi n’emmunyeenye tusobole okufuna ekitangaala ekiro. Era Katonda yatonda ensi tugibeereko.

Naye enjuba, omwezi, emmunyeenye n’ensi si bye bintu Katonda bye yasooka okutonda. Omanyi kye yasooka okutonda? Katonda yasooka kutonda bantu abalinga ye. Tetusobola kulaba bantu bano, era nga bwe tutasobola kulaba Katonda. Mu Baibuli abantu bano bayitibwa bamalayika. Katonda yatonda bamalayika okubeera naye mu ggulu.

Malayika Katonda gwe yasooka okutonda yali wa njawulo nnyo. Yali Mwana wa Katonda omubereberye, era yakolera wamu ne Ki­taawe. Yayamba Katonda mu kutonda ebintu ebirala byonna. Yayamba Katonda okutonda enjuba, omwezi, emmunyeenye era n’ensi yaffe.

Ensi yali efaanana etya mu kiseera ekyo? Mu kusooka tewaliwo n’omu eyali ayinza okubeera ku nsi. Waaliwo oguyanja gumu gwokka ogunene ogwali gusaanikidde olukalu. Naye, Katonda yali ayagala abantu okubeera ku nsi. Bwe kityo, yatandika okututeekerateekera ebintu. Yakola ki?

Okusooka, ensi yali yeetaaga ekitangaala. Bwe kityo Katonda ya­sobozesa ekitangaala okuva ku njuba okutuuka ku nsi. Yakikola bw’atyo wasobole okubangawo obudde obw’ekiro n’obw’emisana. Oluvannyuma Katonda yabbululayo olukalu okuva mu guyanja ogunene.

Mu kusooka ku lukalu tekwaliko kintu kyonna. Lwali nga bw’olaba mu kifaananyi ekyo. Tewaaliwo bimuli, emiti oba ensolo. Mu nnyanja temwalimu byennyanja. Katonda yalina ebirala bye yalina okukola okusobola okufuula ensi ekifo ekisaanira okubeerako ensolo n’abantu.

Yeremiya 10:12; Abakkolosaayi 1:15-17; Olubereberye 1:1-10.

Ebibuuzo