Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Olusuku Olulabika Obulungi

Olusuku Olulabika Obulungi

OLUGERO 2

Olusuku Olulabika Obulungi

TUNUULIRA ensi mu kifaananyi kino! Nga buli kimu kirabika bulungi nnyo! Tunuulira omuddo n’emiti, ebimuli n’ensolo zonna. Osobola okulaba enjovu era n’empologoma?

Olusuku luno olulabika obulungi ennyo lwajja lutya okubaawo? Ka tulabe engeri Katonda gye yatuteekerateekeramu ensi.

Okusooka, Katonda yatonda omuddo okume­ra ku lukalu. Era yatonda ebimera ebitonotono ebya buli kika, ebisaka era n’emiti. Ebimera bino bireetera ensi okulabika obulungi. Naye bikola ekisingawo ku ekyo. Bingi ku byo era bituwa emmere ewooma ennyo.

Oluvannyuma, Katonda yatonda ebyennyanja okubeera mu mazzi, n’ebinyonyi okubuuka mu bbanga. Yatonda embwa, kkapa n’embalaasi; ebisolo ebinene n’ebitono. Bisolo ki ebibeera awaka wammwe? Tetwandibadde basanyufu nti Katonda yatutondera ebintu bino byonna?

Mu nkomerero, Katonda yakola ekitundu ekimu eky’ensi nga kya njawulo nnyo. Ekifo kino yakiyita olusuku Adeni. Lwali lulungi nnyo. Buli kintu kyonna ekyalimu kyali kirabika bulungi. Era Katonda yayagala ensi yonna efaanane ng’olusuku luno olulungi ennyo lwe yakola.

Ddamu otunuulire ekifaananyi ky’olusuku luno. Omanyi Katonda kye yalaba ekyali kirubulamu? Ka tulabe.

Olubereberye 1:11-25; 2:8, 9.

Ebibuuzo