Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omusajja n’Omukazi Abaasooka

Omusajja n’Omukazi Abaasooka

OLUGERO 3

Omusajja n’Omukazi Abaasooka

KIKI eky’enjawulo ekiri mu kifaananyi kino? Yee, be bantu abakirimu. Ye musajja n’omukazi abaasooka. Ani yabatonda? Katonda. Omanyi erinnya lye? Ye Yakuwa. Era omusajja n’omukazi baayitibwa Adamu ne Kaawa.

Eno ye ngeri Yakuwa Katonda gye yatondamu Adamu. Yatoola enfuufu y’ensi n’agibumbamu omubiri ogutuukiridde, omubiri gw’omusajja. Awo n’afuuwa omukka mu nnyindo z’omusajja, Adamu n’afuuka omulamu.

Yakuwa Katonda yawa Adamu omulimu ogw’okukola. Yalagira Adamu okutuuma amannya ebika by’ebisolo byonna. Adamu ayinza okuba nga yatunuulira ebisolo okumala ekiseera kiwanvu n’asobola okubituuma byonna amannya agabisaanira. Adamu bwe yali ng’awa ebisolo amannya alina kye yeetegereza. Omanyi kyali kiki?

Buli kisolo kyalina kinneewaakyo. Waaliwo ­enjovu ensajja n’enjovu enkazi, era waaliwo empologoma ensajja n’empologoma enkazi. Naye Adamu teyalina munne. Yakuwa yaleetera Adamu otulo tungi, era n’amuggyamu olubiriizi. Ng’akozesa olubiriizi olwo, Yakuwa yakolera Adamu omukazi, era yafuuka mukyala we.

Nga Adamu yasanyuka nnyo! Era lowooza ku ssanyu Kaawa lye yafuna bwe yateekebwa mu lusuku olufaanana obulungi ng’olwo! Kati baali basobola okufuna abaana era ne babeera wamu mu ssanyu.

Yakuwa yayagala Adamu ne Kaawa okubeerawo emirembe gyonna. Yayagala bafuule ensi yonna ekifo ekirabika obulungi ennyo ng’olusuku Adeni. Nga Adamu ne Kaawa bateekwa okuba nga baasanyuka nnyo bwe baalowooza ku kukola kino! Ggwe wandyagadde okwenyigira mu kufuula ensi olusuku olufaanana obulungi ennyo? Naye essanyu lya Adamu ne Kaawa teryawangaala. Ka tulabe lwaki.

Zabbuli 83:18; Olubereberye 1:26-31; 2:7-25.

Ebibuuzo