Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensonga Lwaki Baafiirwa Amaka Gaabwe

Ensonga Lwaki Baafiirwa Amaka Gaabwe

OLUGERO 4

Ensonga Lwaki Baafiirwa Amaka Gaabwe

LABA ekiriwo kati. Adamu ne Kaawa bagobebwa mu lusuku olufaanana obulungi ennyo olwa Adeni. Omanyi lwaki?

Kubanga bakoze ekintu ekibi ennyo. N’olwekyo Yakuwa ababonereza. Omanyi ekintu ekibi Adamu ne Kaawa kye bakoze?

Bakoze ekintu Katonda kye yali abagaanye okukola. Katonda yabagamba nti baali basobola okulya ku bibala by’oku miti egy’omu lusuku. Naye waliwo omuti ogumu Katonda gwe yabagaana okulyako, nti singa bagulyako bandifudde. Omuti ogwo yagukuuma nga gugwe. Era tukimanyi nti kikyamu okutwala ekintu ky’omuntu omulala, si bwe kiri? Kati kiki ekyaliwo?

Lumu nga Kaawa ali yekka mu lusuku, omusota gwayogera naye. Kirowoozeeko! Gwagamba Kaawa okulya ekibala okuva ku muti Katonda gwe yabagaana okulyako. Yakuwa bwe yatonda emisota, teyagitonda nga girina obusobozi bw’okwogera. N’olwekyo, kino kiraga nti waliwo omuntu omulala eyayogerera mu musota. Yali ani?

Teyali Adamu. N’olwekyo ateekwa okuba yali omu ku bantu Yakuwa be yatonda edda ennyo nga tannatonda nsi. Abantu abo bayitibwa bamalayika, era tetusobola kubalaba. Malayika omu yafuuka wa malala nnyo. Yatandika okulowooza nti yandibadde mufuzi nga Katonda. Era yayagala abantu bamugondere mu kifo ky’okugondera Yakuwa. Ye malayika eyayogerera mu musota.

Malayika ono yasobola okubuzaabuza Kaawa. Bwe yamugamba nti ajja kuba nga Katonda bw’anaalya ku kibala, yakikkiriza. Bw’atyo n’alya, era ne Adamu naye n’alya. Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, era eyo ye nsonga lwaki baafiirwa amaka gaabwe agalabika obulungi ennyo ag’omu lusuku.

Naye ekiseera kijja kutuuka Katonda afuule ensi yonna ekifo ekirabika obulungi ennyo ng’olusuku Adeni. Mu maaso eyo tujja kuyiga engeri gy’oyinza okwenyigira mu kugifuula ekifo ekirabika obulungi. Naye kati, ka tulabe ekyatuuka ku Adamu ne Kaawa.

Olubereberye 2:16, 17; 3:1-13, 24; Okubikkulirwa 12:9.

Ebibuuzo