Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obulamu Obuzibu Butandika

Obulamu Obuzibu Butandika

OLUGERO 5

Obulamu Obuzibu Butandika

NGA bali ebweru w’olusuku Adeni, Adamu ne Kaawa baafuna ebizibu bingi nnyo. Baalina okukola ennyo okufuna emmere. Mu kifo ky’okulaba emiti gy’ebibala egirabika obulungi, baalabanga magwa na matovu nga ge gabeetoolodde. Kino kye kyabaawo Adamu ne Kaawa bwe baajeemera Katonda era ne balekera awo okubeera mikwano Gye.

Naye, ekyasinga n’ekyo obubi, Adamu ne Kaawa baatandika okufa. Jjukira, Katonda yabalabula nti bandifudde singa balya ku kibala ky’omuti gwe yabagaana okulyako. Bwe kityo, olunaku lwennyini lwe baagulyako baatandika okufa. Nga baali basiru nnyo obutawuliriza Katonda!

Abaana ba Adamu ne Kaawa bonna baazaalibwa nga Katonda amaze kugoba bazadde baabwe mu lusuku Adeni. Kino kitegeeza nti abaana nabo bandikaddiye era ne bafa.

Singa Adamu ne Kaawa baagondera Yakuwa, obulamu bwabwe n’obw’abaana baabwe bwandibadde bwa ssanyu. Bonna bandibaddewo emirembe gyonna mu ssanyu ku nsi. Tewali n’omu yandikaddiye, n’alwala era n’afa.

Katonda ayagala abantu okubeerawo emirembe gyonna nga bali mu ssanyu, era Asuubiza nti ekiseera kijja kutuuka kino kibeewo. Ensi yonna tejja kukoma ku kulabika bulungi kyokka, naye era abantu bonna bajja kuba balamu bulungi. Era buli omu ku nsi ajja kubeera wa mukwano eri munne n’eri Katonda.

Naye Kaawa yali takyali mukwano gwa Katonda. Bwe kityo, teyakisanga nga kyangu mu kuzaala abaana. Yafunanga obulumi. Kya lwatu ng’okujeemera Yakuwa kwamuleetera obuyinike bungi, si bwe kiri?

Adamu ne Kaawa baazaala abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala bangi. Bwe baazaala omwana waabwe omulenzi eyasooka, baamutuuma Kayini. Ate omwana waabwe ow’okubiri baamutuuma Abeeri. Kiki ekyabatuukako? Okimanyi?

Olubereberye 3:16-23; 4:1, 2; Okubikkulirwa 21:3, 4.

Ebibuuzo