Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu Abawagguufu mu Nsi

Abantu Abawagguufu mu Nsi

OLUGERO 8

Abantu Abawagguufu mu Nsi

SINGA omuntu atambula ng’ajja gy’oli era nga muwanvu nnyo ng’akoma ku kasolya k’ennyumba yammwe, wandirowoozezza ki? Omuntu oyo yandibadde muwagguufu! Mu kiseera ekimu waaliwo abantu abawagguufu ku nsi. Baibuli eraga nti bataata baabwe baali bamalayika abaava mu ggulu. Naye ekyo kyasoboka kitya?

Jjukira, malayika omujeemu Setaani yali yeeyongera okukola emitawaana. Yagezaako n’okusendasenda bamalayika ba Katonda okufuuka ababi. Oluvannyuma lw’ekiseera, bamalayika abamu baatandika okuwuliriza Setaani. Baalekera awo okukola emirimu Katonda gye yali abawadde mu ggulu. Era ne bajja ku nsi ne beeyambaza emibiri gy’abantu. Omanyi lwaki?

Baibuli egamba nti kubanga abaana ba Katonda baalaba abakazi abalabika obulungi ku nsi ne baagala okubeera nabo. N’olwekyo, bajja ku nsi era ne bawasa abakazi abo. Baibuli egamba nti kino kyali kikyamu, olw’okuba Katonda yakola bamalayika okubeera mu ggulu.

Bamalayika ne bakazi baabwe bwe baazaala abaana, abaana baabwe baali baawufu. Okusooka bayinza okuba tebaalabika nga abaawufu ennyo. Naye beeyongera okugejja, era ne bafuuka ba maanyi nnyo okutuusa lwe baafuuka abawagguufu.

Abantu bano abawagguufu baali babi. Era olw’okuba baali banene nnyo era nga ba maanyi, baalumyanga abantu. Baagezaako okukaka buli omu abeere mubi nga bwe baali.

Enoka yali afudde, naye waaliwo omusajja omu ku nsi eyali omulungi. Erinnya lye yali Nuuwa. Yakolanga byonna Katonda bye yali amwetaaza okukola.

Lumu Katonda yagamba Nuuwa nti ekiseera kyali kituuse Azikirize abantu ababi bonna. Naye Katonda yali agenda okuwonya Nuuwa, ab’omu maka ge era n’ebisolo bingi. Ka tulabe engeri Katonda gye yakikolamu.

Olubereberye 6:1-8; Yuda 6.

Ebibuuzo