Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu Bazimba Omunaala Omuwanvu

Abantu Bazimba Omunaala Omuwanvu

OLUGERO 12

Abantu Bazimba Omunaala Omuwanvu

EMYAKA mingi gyayitawo. Batabani ba Nuuwa baazaala abaana bangi. Era n’abaana baabwe baakula nabo ne bazaala abaana. Mu bbanga ttono abantu baali bangi nnyo ku nsi.

Omu ku bantu bano yali muzzukulu wa Nuuwa ayitibwa Nimuloodi. Yali musajja mubi nnyo eyayigganga era n’atta abantu n’ebisolo. Nimuloodi era yeefuula kabaka, afugenga abantu abalala. Katonda yali tayagala Nimuloodi.

Mu kiseera ekyo, abantu bonna baali boogera olulimi lumu. Nimuloodi yayagala babeere wamu yeeyongere okubafuga. Omanyi kye yakola? Yagamba abantu okuzimba ekibuga, nga kirimu omunaala omuwanvu. Balabe awo mu kifaananyi nga bakola amatofaali.

Yakuwa Katonda teyasanyukira kuzimba okwo. Katonda yali ayagala abantu basaasaane babeere mu bitundu byonna eby’ensi. Naye abantu baagamba: ‘Kale nno! Ka tuzimbe ekibuga n’omunaala omuwanvu ogutuuka mu ggulu. Olwo tujja kuba batutumufu!’ Abantu baayagala okwefunira ekitiibwa , so si okuweesa Katonda ekitiibwa.

Bwe kityo, Katonda yaleetera abantu okulekera awo okuzimba omunaala. Omanyi engeri gye yakikolamu? Ng’aleetera abantu okwogera ennimi ez’enjawulo, mu kifo ky’olulimi lumu lwokka. Abazimbi baali tebakyasobola kutegeeragana. Eyo ye nsonga lwaki ekibuga kyabwe kyayitibwa Baberi, oba Babulooni, ekitegeeza “Obutabufutabufu.”

Abantu baatandika okuva mu Baberi. Ebibinja by’abantu abaali boogera olulimi olumu, baagenda okubeera awamu mu bitundu by’ensi ebirala.

Olubereberye 10:1, 8-10; 11:1-9.

Ebibuuzo