Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Isaaka Afuna Omukyala Omulungi

Isaaka Afuna Omukyala Omulungi

OLUGERO 16

Isaaka Afuna Omukyala Omulungi

OMANYI omukazi oyo ali mu kifaananyi? Erinnya lye ye Lebbeeka. Era omusajja gw’agenda okusisinkana ye Isaaka. Agenda kufuuka mukyala we. Kino kyajjawo kitya?

Taata wa Isaaka, Ibulayimu, yayagala okufunira omwana we omukyala omulungi. Teyayagala Isaaka awase omu ku bakazi ab’omu Kanani, kubanga abantu abo baasinzanga bakatonda ab’obulimba. Bwe kityo, Ibulayimu yayita omuweereza we n’amugamba: ‘Njagala ogende e Kalani eri ab’eŋŋanda zange ofunire mutabani wange Isaaka omukyala.’

Amangu ago omuweereza wa Ibulayimu y’atwala eŋŋamira kkumi n’atindigga olugendo oluwanvu. Ng’anaatera okutuuka mu kifo ab’eŋŋanda za Ibulayimu we babeera, yayimirira awali oluzzi. Obudde bwali buwungedde, ekiseera abakazi b’omu kibuga we bajjiranga okusena amazzi ku luzzi. Bwe kityo omuweereza wa Ibulayimu yasaba Yakuwa: ‘Ka omukazi anansenera amazzi awamu ne ŋŋamira abeere gw’olonze okuba mukyala wa Isaaka.’

Mangu, Lebbeeka yajja okusena amazzi. Omuweereza ono bwe yamusaba amazzi anyweko, yagamuwa. Awo, n’agenda n’asenera eŋŋamira zonna amazzi agazimala. Ogwo gwali mulimu gwa maanyi nnyo kubanga eŋŋamira zinywa amazzi mangi nnyo.

Lebbeeka bwe yamala okukola kino, omuweereza wa Ibulayimu y’amubuuza erinnya lya kitaawe. Era yamubuuza obanga yali asobola okusula ewaabwe ekiro ekyo. Lebbeeka yamuddamu: ‘Kitange ye Bessweri, era ekifo weekiri aw’okusula.’ Omuweereza wa Ibulayimu yali akimanyi nti Bessweri yali mwana wa muganda wa Ibulayimu, Nakoli. Awo n’afukamira ne yeebaza Yakuwa olw’okumukulembera okutuuka ku b’eŋŋanda za Ibulayimu.

Ekiro ekyo omuweereza wa Ibulayimu yategeeza Bessweri ne Labbaani mwannyina wa Lebbeeka ensonga eyali emuleese. Bombi bakkiriza nti Lebbeeka ayinza okugenda naye afumbirwe Isaaka. Lebbeeka yagamba ki bwe yabuuzibwa? Yagamba nti, ‘Yee,’ yali ayagala okugenda. Bwe kityo enkeera beebagala eŋŋamira ne batandika olugendo oluwanvu okudda e Kanani.

We baatuukira, kyali kiseera kya kawungeezi. Lebbeeka yalaba omusajja ng’atambula mu nnimiro. Yali Isaaka. Yasanyuka nnyo okulaba Lebbeeka. Waali waakayitawo emyaka esatu gyokka kasookedde maama we Saala afa n’olwekyo akyali munakuwavu. Naye Isaaka yayagala nnyo Lebbeeka, era n’addamu okuba omusanyufu.

Olubereberye 24:1-67.

Ebibuuzo