Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yakobo Afuna Amaka Amanene

Yakobo Afuna Amaka Amanene

OLUGERO 19

Yakobo Afuna Amaka Amanene

TUNUULIRA amaka gano amanene. Bano be batabani ba Yakobo 12. Era yalina n’abaana ab’obuwala. Omanyi amannya g’abaana bano? Ka tuyige agamu ku go.

Leeya yazaala Lewubeeni, Simyoni, Leevi, ne Yuda. Laakeeri bwe yalaba nga tazaddeyo mwana n’omu yanakuwala nnyo. N’olw’ensonga eyo yawa Yakobo omuzaana we Biira, era Biira n’azaala abaana ab’obulenzi babiri abayitibwa Ddaani ne Nafutaali. Awo Leeya naye n’awa Yakobo omuzaana we Zirupa, era Zirupa n’azaala Gaadi ne Aseri. Leeya yazaala abaana ab’obulenzi abalala babiri, Isakaali ne Zebbulooni.

Laakeeri yalwaddaaki naye n’azaala omwana. Yamutuuma erinnya Yusufu. Oluvannyumako tujja kuyiga ebirala bingi ebikwata ku Yusufu, kubanga yafuuka omuntu omukulu ennyo. Bano be baana ab’obulenzi 11 Yakobo be yazaala bwe yali ng’abeera ewa taata wa Laakeeri Labbaani.

Yakobo era yazaala abaana ab’obuwala, naye Baibuli etubuulirako omu yekka. Erinnya lye yali Dina.

Ekiseera kyatuuka Yakobo n’asalawo okuva ewa Labbaani addeyo e Kanani. Bwe kityo, n’akuŋŋaanya wamu amaka ge amanene era n’ebisibo bye eby’endiga n’amagana ge ag’ente, n’atandika olugendo oluwanvu.

Akaseera katono oluvannyuma lwa Yakobo n’ab’omu maka ge okukomawo e Kanani, Laakeeri yazaala omwana omulala ow’obulenzi. Kyabaawo nga bali ku lugendo. Laakeeri yafuna obuzibu bwa maanyi, era n’afa ng’azaala. Naye omwana omulenzi gwe yazaala yali bulungi. Yakobo yamutuuma Benyamini.

Twagala okujjukira amannya ga batabani ba Yakobo 12, kubanga eggwanga lyonna erya Isiraeri lyava mu bo. Mu butuufu, ebika bya Isiraeri 12 byatuumibwa amannya ga batabani ba Yakobo 10 ne batabani ba Yusufu babiri. Isaaka yawangaala emyaka mingi oluvannyuma lw’okuzaalibwa kw’abalenzi bano bonna, era kiteekwa okuba nga kyamusanyusa nnyo okuba n’abazzukulu abangi. Naye ka tulabe ekyatuuka ku muzzukulu we Dina.

Olubereberye 29:32-35; 30:1-26; 35:16-19; 37:35.

Ebibuuzo