Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Dina Agwa mu Mitawaana

Dina Agwa mu Mitawaana

OLUGERO 20

Dina Agwa mu Mitawaana

OLABA Dina b’agenda okukyalira? Agenda kukyalira abamu ku bawala ababeera mu Kanani. Kino kyandisanyusizza kitaawe Yakobo? Okutuyamba okuddamu ekibuuzo kino, gezaako okujjukira Ibulayimu ne Isaaka kye baalowooza ku bakazi b’omu Kanani.

Ibulayimu yayagala mutabani we Isaaka awase omuwala okuva mu Kanani? Nedda, teyakyagala. Isaaka ne Lebbeeka baayagala mutabani waabwe Yakobo awase omuwala Omukanani? Nedda, tebaakyagala. Omanyi lwaki?

Olw’okuba abantu b’omu Kanani baasinzanga bakatonda ab’o­bulimba. Tebaali bantu balungi okufumbirwa oba okuwasa, era ­tebaali bantu balungi okufuulibwa ab’emikwano egy’oku lusegere. N’olwekyo tuyinza okuba abakakafu nti Yakobo tekyandimusa­nyusizza nga muwala we akola emikwano n’abawala bano Abakanani.

Mazima ddala, Dina yagwa mu mitawaana. Osobola okulaba omusajja oyo Omukanani mu kifaananyi atunuulidde Dina? Erinnya lye ye Sekemu. Lumu Dina bwe yajja okukyala, Sekemu yatwala Dina era n’amukaka okwebaka naye. Kino kyali kikyamu, kubanga abasajja n’abakazi abafumbo bokka be balina okwebaka awamu. Ekintu kino ekibi Sekemu kye yakola Dina kyavaamu emitawaana emirala mingi.

Bannyina ba Dina bwe baamanya ekyali kibaddewo, baasunguwala nnyo. Babiri ku bo, Simyoni ne Leevi, baasunguwala nnyo ne bakwata ebitala ne bagenda mu kibuga ng’abaayo tebabasuubira. Bo awamu ne baganda baabwe batta Sekemu era n’abasajja abalala bonna. Yakobo yasunguwala nnyo kubanga abaana be bakola ekintu kino ekibi ennyo.

Lwaki emitawaana gino gyonna gyabaawo? Lwakuba Dina yakola emikwano n’abantu abaali batagondera mateeka ga Katonda. Tetwandyagadde kukola mikwano bwe gityo, tunaagikola?

Olubereberye 34:1-31.

Ebibuuzo