Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yusufu Ateekebwa mu Kkomera

Yusufu Ateekebwa mu Kkomera

OLUGERO 22

Yusufu Ateekebwa mu Kkomera

YUSUFU aba alina emyaka 17 gyokka bw’atwalibwa e Misiri. Eyo atundibwa eri omusajja ayitibwa Potifali. Potifali akolera kabaka w’e Misiri, ayitibwa Falaawo.

Yusufu akola n’amaanyi emirimu gya mukama we Potifali. N’olwekyo Yusufu bw’akula, Potifali amuwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ennyumba ye yonna. Kati olwo, lwaki Yusufu ali mu kkomera? Lwa mukyala wa Potifali.

Yusufu akula n’abeera omusajja alabika obulungi, era mukyala wa Potifali ayagala yeebake naye. Naye Yusufu amanyi nti kino kikyamu, era takikola. Mukyala wa Potifali asunguwala nnyo. N’olwensonga eyo, omwami we bw’akomawo awaka, amulimba ng’agamba: ‘Yusufu oyo omubi yagezezzaako okwebaka nange!’ Potifali akkiriza mukyala we by’ayogedde, era n’asunguwalira nnyo Yusufu. N’olwekyo, amuwaayo okuteekebwa mu kkomera.

Omusajja alabirira ekkomera mu bbanga ttono akiraba nti Yusufu musajja mulungi. N’olwekyo, amuwa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abasibe abalala bonna. Oluvannyuma lw’ekiseera, Falaawo asunguwalira omusenero we n’omufumbiro we era n’abateeka mu kkomera. Ekiro kimu, buli omu aloota ekirooto eky’enjawulo, naye tebamanyi makulu ga birooto byabwe. Enkeera Yusufu abagamba: ‘Mumbuulire ebirooto byammwe.’ Era bwe bamubuulira, Yusufu ng’alina obuyambi bwa Katonda, abannyonnyola amakulu g’ebirooto byabwe.

Yusufu agamba bw’ati omusenero: ‘Mu nnaku ssatu ojja kusumululwa okuva mu kkomera, era ojja kuddamu okubeera omusenero wa Falaawo.’ N’olwekyo, Yusufu ayongerezaako: ‘Bw’onoosumululwa, buulira Falaawo ebinkwatako, onnyambe okuva mu kifo kino.’ Naye omufumbiro Yusufu amugamba: ‘Mu nnaku ssatu zokka Falaawo ajja kulagira bakutemeko omutwe.’

Mu nnaku ssatu Yusufu by’agambye butuukirira. Falaawo alagira ne batemako omutwe gw’omufumbiro. Kyokka, omusenero asumululwa mu kkomera era n’addamu okuweereza kabaka. Naye, omusenero yeerabirira ddala Yusufu! Tabuulira Falaawo bimukwatako, era Yusufu asigala mu kkomera.

Olubereberye 39:1-23; 40:1-23.

Ebibuuzo