Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yusufu Agezesa Baganda be

Yusufu Agezesa Baganda be

OLUGERO 24

Yusufu Agezesa Baganda be

YUSUFU ayagala okumanya oba baganda be 10 bakyalina ettima n’obukyayi. N’olwekyo abagamba: ‘Muli bakessi. Muzze kulaba ensi yaffe weeri ennafu.’

‘Nedda, tetuli bakessi,’ bwe batyo bwe bagamba. ‘Tuli basajja beesigwa. Fenna tuli ba luganda. Twali 12. Naye muganda waffe omu takyaliwo, ate asembayo obuto ali waka ne kitaffe.’

Yusufu yeefuula atakkiriza bye bamugamba. Ateeka ow’oluganda ayitibwa Simyoni mu kkomera, abalala abawa emmere n’abaleka baddeyo ewaabwe. Naye abagamba: ‘Bwe muba mukomawo, mulina okuleeta muganda wammwe asembayo obuto.’

Bwe baddayo ewaabwe mu Kanani, ab’oluganda bano babuulira kitaabwe Yakobo byonna ebibaddewo. Yakobo anakuwala nnyo. ‘Yusufu takyaliwo,’ bw’atyo bw’akaaba, ‘kati ne Simyoni naye takyaliwo. Sijja kubakkiriza kutwala mwana wange asembayo obuto Benyamini.’ Naye emmere yaabwe bw’etandika okukendeera, Yakobo abakkiriza okutwala Benyamini basobole okufunayo emmere endala.

Kati Yusufu alaba baganda be nga bajja. Musanyufu nnyo okulaba muganda we omuto Benyamini. Kya lwatu, tewali n’omu ku bo amanyi nti omusajja ono omukulu ye Yusufu. Kati Yusufu abaako ky’akola okugezesa baganda be 10.

Alagira abaweereza be okujjuza ebisawo byabwe byonna emmere. Naye nga tababuulidde, era alagira ekikopo kye ekya ffeeza kiteekebwe mu kisawo kya Benyamini. Nga bonna bamaze okugenda era nga batambuddeko akabanga katono, Yusufu atuma abaweereza be okubawondera. Bwe babasisinkana, abaweereza bagamba: ‘Lwaki mubbye ekikopo kya mukama waffe ekya ffeeza?’

‘Tetubbye kikopo kye,’ ab’oluganda bonna bwe bagamba. ‘Bwe musanga ekikopo ekyo n’omu ku ffe, omuntu oyo attibwe.’

N’olwekyo abaweereza baaza ebisawo byonna, era ne basanga ekikopo mu kisawo kya Benyamini nga bw’olaba awo. Abaweereza bagamba: ‘Mmwe abalala muyinza okugenda, naye Benyamini alina okuddayo naffe.’ Kati ab’oluganda abo 10 banaakola ki?

Bonna bakomawo ne Benyamini mu nnyumba ya Yusufu. Yusufu agamba baganda be: ‘Mmwe muyinza okuddayo ewammwe, naye Benyamini ajja kusigala wano ng’omuddu wange.’

Kati Yuda ayogera era n’agamba: ‘Bwe nnaddayo eka ng’omulenzi oyo siri naye, taata wange ajja kufa kubanga amwagala nnyo. N’olwekyo, nkusaba, sigaza nze ng’omuddu wo, naye omulenzi muleke agende eka.’

Yusufu akiraba nti baganda be bakyuse. Tebakyalina ttima n’obukyayi. Kati ka tuzuule Yusufu ky’akola.

Olubereberye 42:9-38; 43:1-34; 44:1-34.

Ebibuuzo