Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ensonga Lwaki Musa Yadduka

Ensonga Lwaki Musa Yadduka

OLUGERO 29

Ensonga Lwaki Musa Yadduka

LABA Musa ng’adduka okuva e Misiri. Osobola okulaba abasajja abamugoba? Omanyi lwaki baagala okutta Musa? Ka tulabe obanga tuyinza okukizuula.

Musa yakulira mu nnyumba ya Falaawo, omufuzi wa Misiri. Yafuuka omusajja omugezi era ow’ekitiibwa ennyo. Musa yali akimanyi nti teyali Mumisiri, naye nti bazadde be abatuufu baali Baisiraeri abaddu.

Lumu, bwe yali ng’aweza emyaka 40, Musa yasalawo agende alabe abantu be bwe baali. Baali bayisibwa bubi nnyo. Yalaba Omumisiri ng’akuba omuddu Omuisiraeri. Musa yatunula wonna, bwe yalaba nga tewaaliwo amulaba yakuba Omumisiri, era Omumisiri n’afa. Awo Musa n’akweka omulambo gwe mu musenyu.

Olunaku olwaddako, era Musa yagenda okulaba abantu be. Yalowooza nti ayinza okubayamba baleme kubeera baddu nate. Naye yalaba abasajja Abaisiraeri babiri nga balwana, awo Musa n’agamba eyali mu nsobi: ‘Lwaki okuba muganda wo?’

Omusajja n’amugamba: ‘Ani eyakufuula omufuzi waffe era omulamuzi? Ogenda kunzita nga bwe watta Omumisiri?’

Musa n’atya nnyo. Yamanya nti abantu baali bazudde kye yali akoze Omumisiri. Falaawo naye yakiwulira era n’atuma abasajja okutta Musa. Eyo ye nsonga lwaki Musa yadduka okuva e Misiri.

Musa bwe yava mu Misiri, yagenda wala nnyo mu nsi ya Midiyaani. Eyo gye yasisinkana ab’omu maka ga Yesero, era n’awasa omu ku bawala be ayitibwa Zipola. Musa yafuuka musumba era n’alabirira endiga za Yesero. Yamala emyaka 40 ng’ali mu nsi ya Midiyaani. Kati yali alina emyaka 80 egy’obukulu. Naye lumu, Musa bwe yali alabirira endiga za Yesero, ekintu ekyewuunyisa kyabaawo ekyakyusa obulamu bwa Musa. Bikkula olupapula oluddako, tulabe ekintu kino ekyewuunyisa.

Okuva 2:11-25; Ebikolwa 7:22-29.

Ebibuuzo