Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekisaka Ekyaka

Ekisaka Ekyaka

OLUGERO 30

Ekisaka Ekyaka

MUSA yali azze ku lusozi lwa Kolebu ng’anoonyeza endiga ze omuddo. Eno gye yalaba ekisaka nga kyaka omuliro, naye nga tekiggya!

‘Kino kyewuunyisa,’ bw’atyo Musa bwe yalowooza. ‘Ka nkisemberere nkyetegereze.’ Bwe yasembera, eddoboozi lyava mu kisaka nga ligamba: ‘Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga oyimiridde ku ttaka ttukuvu.’ Katonda ye yali ayogera ng’ayitira mu malayika, n’olwekyo Musa yabikka ku maaso ge.

Awo Katonda n’agamba: ‘Ndabye okubonaabona kw’abantu bange mu Misiri. N’olwekyo ŋŋenda kubasumulula, era ggwe gwe ŋŋenda okutuma okubakulembera okuva mu Misiri.’ Yakuwa yali agenda kutwala abantu be mu nsi erabika obulungi eya Kanani.

Naye Musa n’agamba: ‘Sirina bwe ndi. Nyinza ntya okukola kino? Naye ka tugambe nti ŋŋenze. Abaisiraeri bajja kuŋŋamba, “Ani eyakutumye?” Kale nnaabagamba ntya?’

‘Bw’oti bw’onoobagamba,’ bw’atyo Katonda bwe yamuddamu. ‘“YAKUWA Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka era Katonda wa Yakobo y’antumye eri mmwe.”’ Era Yakuwa n’ayongerezaako: ‘Lino lye linnya lyange emirembe gyonna.’

‘Naye singa tebanzikiriza bwe nnaabagamba nti ggwe wantumye,’ bw’atyo Musa bwe yaddamu.

‘Kiki ekiri mu mukono gwo?’ Katonda yamubuuza.

Musa n’amuddamu nti: ‘Muggo.’

‘Gusuule ku ttaka,’ bw’atyo Katonda bwe yagamba. Musa bwe yagusuula, omuggo gwafuuka omusota. Awo ate Yakuwa n’alaga Musa eky’amagero ekirala. N’agamba: ‘Teeka omukono gwo munda mu kyambalo kyo.’ Musa n’akikola, era bwe yaguggyayo, nga gutukula ng’omuzira! Omukono gwali gulabika ng’ogulina obulwadde obubi ennyo obuyitibwa ebigenge. Ekyaddako, Yakuwa yawa Musa amaanyi okukola eky’amagero eky’okusatu. Mu nkomerero n’agamba: ‘Bw’onookola eby’amagero bino Abaisiraeri bajja kukkiriza nti nze nkutumye.’

Oluvannyuma lw’ebyo Musa yaddayo eka n’agamba Yesero: ‘Nkusaba nzireyo eri ab’eŋŋanda zange mu Misiri ndabe bwe bali.’ Awo Yesero n’asiibula Musa, era Musa n’atandika olugendo lwe okuddayo e Misiri.

Okuva 3:1-22; 4:1-20.

Ebibuuzo