Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okusomoka Ennyanja Emmyufu

Okusomoka Ennyanja Emmyufu

OLUGERO 33

Okusomoka Ennyanja Emmyufu

LABA ebiriwo! Oyo agolodde omuggo gwe ku Nnyanja Emmyufu ye Musa. Abo abali naye emitala w’ennyanja be Baisiraeri. Naye Falaawo n’amagye ge gonna basaanyiziddwawo mu nnyanja. Ka tulabe engeri kino gye kyaggyawo.

Nga bwe twayize, Falaawo yagamba Abaisiraeri okuva mu Misiri oluvannyuma lwa Katonda okuleeta ekibonyoobonyo 10 ku Bamisiri. Abasajja Abaisiraeri nga 600,000 be baavaayo awamu n’abakazi n’abaana bangi. Era, abantu abalala bangi kati abaali bakkiririza mu Yakuwa, nabo baavaayo n’Abaisiraeri. Baatwala endiga, embuzi, awamu n’ente zaabwe zonna.

Nga tebannagenda, Abaisiraeri baasaba Abamisiri engoye era n’ebintu ebyakolebwa mu zaabu ne ffeeza. Abamisiri baali batidde nnyo olw’ekibonyoobonyo ekyasembayo okubatuukako. N’olwekyo, baawa Abaisiraeri buli kintu kye baabasabanga.

Nga wayiseewo ennaku ntono Abaisiraeri baatuuka ku Nnyanja Emmyufu. Awo ne bawummulamu. Mu kiseera ekyo, Falaawo n’abasajja be baatandika okwejjusa olw’okuba baaleka Abaisiraeri okugenda. ‘Tulese abaddu baffe okugenda!’ bwe batyo bwe baagamba.

N’olwekyo Falaawo yaddamu okukyusa endowooza ye. Amangu ago, n’ateekateeka eggaali lye ery’entalo n’amagye ge. Awo n’atandika okuwondera Abaisiraeri n’amagaali 600 ag’enjawulo, awamu n’amagaali amalala gonna aga Misiri.

Abaisiraeri bwe baalaba Falaawo n’amagye ge nga gabawondera, baatya nnyo. Waali tewaliwo ngeri ya kudduka. Ennyanja Emmyufu yali ku luuyi olumu, ate nga Abamisiri bava ku luuyi olulala. Naye Yakuwa yateekawo ekire wakati w’abantu be n’Abamisiri. Bwe kityo Abamisiri baali tebasobola kulaba Baisiraeri okubalumba.

Awo Yakuwa n’agamba Musa agolole omuggo gwe ku Nnyanja Emmyufu. Bwe yakikola, Yakuwa yaleeta omuyaga ogw’amaanyi okuva ebuvanjuba. Amazzi g’ennyanja gaayawulwamu, era amazzi ne geetuuma ku njuyi zombi.

Awo Abaisiraeri ne batandika okuyita wakati mu nnyanja ku ttaka ekkalu. Kyatwala essaawa eziwerako obukadde n’obukadde bw’abantu, awamu n’ebisolo byabwe byonna okuyita mu nnyanja okutuuka ku luuyi olulala. Ddaaki, Abamisiri baddamu okulaba Abaisiraeri. Abaddu baabwe baali babaddukako! Bwe kityo ne bayanguwa okuyingira mu nnyanja okubawondera.

Bwe baayingira, Katonda yaleetera binnamuziga by’amagaali gaabwe okuvaako. Abamisiri baatya nnyo era ne batandika okuleekaana: ‘Yakuwa alwanirirako Abaisiraeri. Tudduke!’ Naye kyali tekikyasoboka.

Wano Yakuwa we yagambira Musa okugolola omuggo gwe ku Nnyanja Emmyufu, nga bwe walabye mu kifaananyi. Era Musa bwe yakikola, amazzi gadda ne gabuutikira Abamisiri n’amagaali gaabwe. Eggye lyonna lyali ligoberedde Abaisiraeri mu nnyanja. Era tewali n’omu ku Bamisiri eyawonawo!

Ng’abantu ba Katonda baali basanyufu nnyo okuwonyezebwa! Abasajja baayimba oluyimba okwebaza Yakuwa nga bagamba: ‘Yakuwa awangudde olutalo olw’ekitiibwa. Asudde embalaasi n’abazibaddeko mu nnyanja.’ Mwannyina wa Musa, Miryamu, yakwata ekitaasa kye, era n’abakazi bonna ne bamugoberera nga bakutte ebitaasa byabwe. Nga bazina n’essanyu, baayimba oluyimba lwe lumu abasajja lwe baali bayimba nga bagamba: ‘Yakuwa awangudde olutalo olw’ekitiibwa. Asudde embalaasi n’abazibaddeko mu nnyanja.’

Okuva essuula 12 okutuuka ku 15.

Ebibuuzo