Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Endogoyi Eyogera

Endogoyi Eyogera

OLUGERO 42

Endogoyi Eyogera

WALI owuliddeko ku ndogoyi eyogera? ‘Nedda,’ bw’otyo bw’oyinza okugamba. ‘Ebisolo tebiyinza kwogera.’ Naye Baibuli eyogera ku ndogoyi eyayogera. Ka tulabe engeri gye kyabaawo.

Abaisiraeri banaatera okuyingira mu nsi y’e Kanani. Balaki, kabaka wa Mowaabu, atya Abaisiraeri. N’olwekyo atumya omusajja omugezigezi ayitibwa Balamu ajje akolimire Abaisiraeri. Balaki asuubiza okuwa Balamu ssente nnyingi, n’olwekyo Balamu yeebagala endogoyi era n’agenda okusisinkana Balaki.

Yakuwa tayagala Balamu akolimire bantu Be. N’olwekyo atuma malayika alina ekitala ekiwanvu okuyimirira mu kkubo okuziyiza Balamu okugenda. Balamu tasobola kulaba malayika, naye endogoyi ye emulaba. N’olwekyo endogoyi egezaako okukyuka okuviira malayika, era erwaddaaki n’etula ku ttaka. Balamu asunguwala nnyo, era akuba endogoyi ye n’omuggo.

Awo Yakuwa asobozesa Balamu okuwulira endogoyi ng’eyogera gy’ali. ‘Nkukoze ki olyoke onkube?’ bw’etyo endogoyi bw’emubuuza.

‘Onfudde ng’omusirusiru,’ Balamu n’addamu. ‘Singa mbadde n’ekitala nnandikusse!’

‘Nnali nkuyisizzaako bwe nti?’ bw’etyo endogoyi bw’emubuuza.

‘Nedda,’ Balamu bw’atyo bw’addamu.

Awo Yakuwa asobozesa Balamu okulaba malayika alina ekitala ng’ayimiridde mu kkubo. Malayika amugamba: ‘Endogoyi yo okubye yaaki? Nzize okukuziyiza, kubanga tosaanidde kugenda kukolimira Isiraeri. Singa endogoyi yo tekyuse kuva wendi, nnandibadde nkusse, naye yo ne sigikolako kabi konna.’

Balamu agamba: ‘Nnyonoonye. Sitegedde nti obadde oyimiridde mu kkubo.’ Malayika aleka Balamu okugenda, era Balamu n’agenda, okulaba Balaki. Era agezaako okukolimira Abaisiraeri, naye, mu kifo ky’ekyo, Yakuwa amukozesa okuwa Isiraeri omukisa emirundi esatu.

Okubala 21:21-35; 22:1-40; 23:1-30; 24:1-25.

Ebibuuzo