Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yoswa Afuuka Omukulembeze

Yoswa Afuuka Omukulembeze

OLUGERO 43

Yoswa Afuuka Omukulembeze

MUSA ayagala okuyingira mu Kanani n’Abaisiraeri. N’olwekyo asaba: ‘Yakuwa, nzikiriza nsomoke Omugga Yoludaani, ndabe obulungi bw’ensi.’ Naye Yakuwa amugamba: ‘Ekyo kimala! Toddamu kukyogerako!’ Omanyi lwaki Yakuwa yayogera bw’atyo?

Olw’ekyo ekyaliwo Musa bwe yakuba ku lwazi. Jjukira nti, ye ne Alooni tebaawa Yakuwa kitiibwa. Tebaabuulira bantu nti Yakuwa ye yali agenda okuggya amazzi mu lwazi. Olw’ensonga eyo Yakuwa yagamba nti tajja kubakkiriza kugenda mu Kanani.

Kati nga wayiseewo emyezi mitono oluvannyuma lw’okufa kwa Alooni, Yakuwa agamba Musa: ‘Twala Yoswa, era omuyimirize mu maaso ga Eriyazaali kabona n’abantu bonna. Era mu maaso gaabwe bonna, gamba buli muntu yenna nti Yoswa ye mukulembeze omuppya.’ Musa akola nga Yakuwa bw’alagidde, nga bw’oyinza okulaba mu kifaananyi kino.

Awo Yakuwa agamba Yoswa: ‘Beera n’amaanyi, era totya. Ojja kukulembera Abaisiraeri okutuuka mu nsi y’e Kanani gye nnabasuubiza, era nja kuba naawe.’

Oluvannyuma Yakuwa agamba Musa okulinnya waggulu ku Lusozi Nebo oluli mu nsi ya Mowaabu. Ng’asinzira waggulu eyo, Musa asobola okulengera emitala w’Omugga Yoludaani n’alaba ensi ennungi ey’e Kanani. Yakuwa agamba: ‘Eyo ye nsi gye nnasuubiza okuwa abaana ba Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo. Nkukkiriza okugiraba, naye sijja kukkiriza kugiyingiramu.’

Ng’ali waggulu ku Lusozi Nebo Musa afa. Yalina emyaka 120. Yali akyalina amaanyi, era ng’akyasobola okulaba obulungi. Abantu banakuwala nnyo era bakaaba olw’okuba Musa afudde. Naye basanyuka okufuna Yoswa ng’omukulembeze waabwe omuppya.

Okubala 27:12-23; Ekyamateeka 3:23-29; 31:1-8, 14-23; 32:45-52; 34:1-12.

Ebibuuzo