Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bbugwe wa Yeriko

Bbugwe wa Yeriko

OLUGERO 46

Bbugwe wa Yeriko

KIKI ekireetedde bbugwe wa Yeriko okugwa? Alabika ng’asuuliddwako bbomu ey’amaanyi. Naye mu kiseera ekyo tebaalina bbomu; tebaalina na mundu. Kino kyamagero ekirala Yakuwa ky’akoze! Ka tulabe engeri gye kyajjamu.

Wuliriza Yakuwa by’alagira Yoswa: ‘Ggwe n’abasajja bo abalwanyi mujja kwetooloola ekibuga. Mukyetooloole omulundi gumu buli lunaku okumala ennaku mukaaga. Mutambulenga n’essanduuko y’endagaano. Bakabona musanvu bajja kutambulira mu maaso gaayo era bafuuwenga eŋŋombe zaabwe.

‘Ku lunaku olw’omusanvu mujja kwetooloola ekibuga emirundi musanvu. Awo mufuuwe eŋŋombe era buli omu awoganire waggulu. Era bbugwe ajja kugwa wansi!’

Yoswa n’abantu ne bakola ekyo Yakuwa ky’alagidde. Nga beetooloola, buli omu aba asirise. Tewali n’omu ayogera kigambo kyonna. Ekintu kyokka ekiwulirwa ly’eddoboozi ly’eŋŋombe n’omusinde gw’ebigere. Abalabe b’abantu ba Katonda abali mu Yeriko bateekwa okuba nga batidde nnyo. Osobola okulaba omuguwa omumyufu oguleebeeta mu ddirisa? Ddirisa ly’ani eryo? Yee, Lakabu akoze abakessi ababiri kye baamugamba. Ab’eŋŋanda ze bonna abali naye munda balaba ekigenda mu maaso.

Kulwaddaaki, ku lunaku olw’omusanvu, oluvannyuma lw’okwetooloola ekibuga emirundi musanvu, eŋŋombe zivuga, abasajja abalwanyi bawogana, era bbugwe agwa. Awo Yoswa agamba: ‘Mutte buli muntu ali mu kibuga era mukyokye. Mwokye buli kintu kyonna. Naye effeeza, zaabu, n’ebintu eby’ekikomo n’ekyuma, temubyokya era mubiweeyo mu ggwanika ly’ennyumba ya Yakuwa.’

Eri abakessi ababiri, Yoswa agamba: ‘Mugende mu nnyumba ya Lakabu, muggyeyo ab’eŋŋanda ze bonna.’ Lakabu n’ab’eŋŋanda ze bawonawo nga abakessi bwe baamusuubiza.

Yoswa 6:1-25.

Ebibuuzo