Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omubbi mu Isiraeri

Omubbi mu Isiraeri

OLUGERO 47

Omubbi mu Isiraeri

LABA omusajja oyo ky’aziika mu weema ye! Ekyambalo ekifaanana obulungi, olulimu lwa zaabu, n’ebitundu bya ffeeza. Abiggye mu kibuga ky’e Yeriko. Naye ebintu okuva mu Yeriko byandikoleddwa bitya? Okyakijjukira?

Byali bya kuzikirizibwa, ate zaabu n’effeeza byali bya kuweebwayo mu ggwanika ly’omu weema ya Yakuwa. N’olwekyo abantu bano bajeemedde Katonda. Babbye ebintu bya Katonda. Erinnya ly’omusajja oyo ye Akani, era n’abo abali naye bamu ku b’omu maka ge. Ka tulabe ekibaawo.

Nga Akani amaze okubba ebintu bino, Yoswa atuma abasajja abamu okulwanyisa ekibuga ky’e Ayi. Naye bawangulibwa mu lutalo. Abamu battibwa, abasigalawo ne badduka. Yoswa munakuwavu nnyo. Yeevuunika wansi n’asaba Yakuwa: ‘Lwaki okkiriza kino okubaawo?’

Yakuwa addamu: ‘Golokoka! Isiraeri ayonoonye. Batutte ebintu ebimu ebyali eby’okuzikirizibwa oba eby’okuweebwayo mu weema ya Yakuwa. Babbye ekyambalo ekifaanana obulungi ne bakikweka. Sijja kubawa mukisa okutuusa nga mumaze okukizikiriza, n’oyo atutte ebintu bino.’ Yakuwa agamba nti ajja kulaga Yoswa omusajja ono omubi.

Bwe kityo Yoswa akuŋŋaanya abantu bonna, Yakuwa n’alondamu omusajja omubi Akani. Akani agamba: ‘Nnyonoonye. Nnalaba ekyambalo ekifaanana obulungi, olulimi lwa zaabu, n’ebitundu bya ffeeza. Nnabyegomba nnyo era ne mbitwala. Mujja kubisanga gye nnabiziika mu weema yange.’

Ebintu bino bwe bizuulibwa ne bireetebwa eri Yoswa, agamba Akani nti: ‘Lwaki otusudde mu mutawaana? Kati naawe Yakuwa ajja kukusuula mu mutawaana!’ Ekyaddirira, abantu bonna ne bakuba Akani n’abomu maka ge amayinja okutuusa bwe baafa. Ekyo tekiraga nti tetuteekwa kutwala bintu bitali byaffe?

Oluvannyuma Isiraeri egenda nate okulwanyisa Ayi. Ku mulundi guno Yakuwa ayamba abantu be, era bawangula olutalo.

Yoswa 7:1-26; 8:1-29.

Ebibuuzo