Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abakazi Babiri Abazira

Abakazi Babiri Abazira

OLUGERO 50

Abakazi Babiri Abazira

ABAISIRAERI bwe bagwa mu mitawaana, bakaabirira Yakuwa. Yakuwa abaddamu ng’abawa abakulembeze abazira okubayamba. Baibuli eyita abakulembeze bano abalamuzi. Yoswa ye mulamuzi eyasooka, era abamu ku balamuzi abamuddirira baali bayitibwa Osunieri, Ekudi ne Samugali. Abantu babiri abayamba Isiraeri bakazi abayitibwa Debola ne Yayeeri.

Debola nnabbi omukazi. Yakuwa amubuulira ebintu ebikwata ku biseera eby’omu maaso era naye abuulira abantu Yakuwa by’ayogera. Debola era mulamuzi. Atuula wansi w’olukindu oluli mu nsi y’omu nsozi, era abantu bajja gy’ali okufuna obuyambi ku bizibu byabwe.

Mu kiseera kino Yabini ye kabaka wa Kanani. Alina amagaali g’entalo 900. Eggye lye lya maanyi nnyo ne kiba nti Abaisiraeri bangi bakakibwa okufuuka abaddu ba Yabini. Omukulu w’eggye lya Yabini ayitibwa Sisera.

Lumu Debola atumya Omulamuzi Balaki n’amugamba: ‘Yakuwa agambye: “Twala abasajja 10,000 era obakulembere okutuuka ku Lusozi Taboli. Eyo nja kukuleetera Sisera. Era nja kukuyamba omuwangule awamu n’eggye lye.”

Balaki agamba Debola: ‘Nja kugenda singa naawe onoogenda nange.” Debola agenda naye, kyokka agamba Balaki nti: ‘Obuwanguzi bw’olutalo tebujja kuweebwa ggwe, kubanga Yakuwa ajja kugabula Sisera mu mukono gw’omukazi.’ Era kino kye kibaawo.

Balaki aserengeta okuva ku Lusozi Taboli okusisinkana abaserikale ba Sisera. Mangu ddala Yakuwa aleeta amataba, era abaserikale b’omulabe bangi bafa. Naye Sisera abuuka mu ggaali lye n’adduka.

Nga wayiseewo akaseera Sisera atuuka ku weema ya Yayeeri. Yayeeri amwaniriza era n’amuwa amata. Kino kimuleetera okusumagira, era mangu ddala yeebaka otulo tungi. Awo Yayeeri atwala enkondo ya weema n’agikomerera mu mutwe gw’omusajja ono omubi. Oluvannyuma, Balaki bw’ajja, amulaga Sisera afudde! N’olwekyo oyinza okulaba nti Debola bye yayogera byatuukirira.

Mu nkomerero Kabaka Yabini naye attibwa, era Abaisiraeri bafuna emirembe nate okumala ekiseera.

Ekyabalamuzi 2:14-22; 4:1-24; 5:1-31.

Ebibuuzo