Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Luusi ne Nawomi

Luusi ne Nawomi

OLUGERO 51

Luusi ne Nawomi

MU Baibuli ojja kusangamu ekitabo ekiyitibwa Luusi. Lugero olukwata ku maka agamu agaaliwo mu kiseera Isiraeri we yabeerera n’abalamuzi. Luusi mukazi muto ava mu nsi ya Mowaabu; si wa ggwanga lya Katonda erya Isiraeri. Naye Luusi bw’ayiga ku Katonda ow’amazima Yakuwa, atandika okumwagala ennyo. Nawomi mukazi mukadde eyayamba Luusi okuyiga ku Yakuwa.

Nawomi mukazi Muisiraeri. Ye n’omwami we ne batabani baabwe ababiri baasengukira mu nsi ya Mowaabu mu kiseera emmere we yali entono mu Isiraeri. Ekiseera kituuka omwami wa Nawomi n’afa. Oluvannyuma batabani ba Nawomi baawasa abawala babiri Abamowaabu abayitibwa Luusi ne Olupa. Naye nga wayiseewo emyaka nga 10, batabani ba Nawomi bombi bafa. Nawomi n’abawala bano bombi nga bateekwa okuba nga baanakuwala nnyo! Kati Nawomi yandikoze ki?

Lumu Nawomi asalawo okutambula olugendo oluwanvu addeyo eri abantu be. Luusi ne Olupa baagala okubeera naye, era n’olwekyo basalawo okugenda naye. Kyokka nga bamaze okutambulako akabanga, Nawomi agamba abawala: ‘Muddeyo ewammwe musigale ne bannyammwe.’

Nawomi anywegera abawala n’abasiibula. Awo batandika okukaaba, kubanga baagala nnyo Nawomi. Bagamba: ‘Nedda! Tujja kugenda naawe eri abantu bo.’ Naye Nawomi addamu: ‘Muteekwa okuddayo baana bange. Mujja kubeera bulungi nga muli ewammwe.’ Olupa atandika okuddayo ewaabwe. Naye Luusi agaana.

Nawomi amugamba: ‘Olupa agenze. Naawe ddayo ewammwe.’ Naye Luusi amuddamu: ‘Tonsindiikiriza kukuleka! Leka ŋŋende naawe. W’onoogenda nange we nnaagenda, era w’onoobeera nange we nnaabeera. Abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo y’anaabanga Katonda wange. Gy’olifiira nange gye ndifiira era gye balinziika.’ Luusi bw’ayogera bino, Nawomi taddayo kumugamba kuddayo waabwe.

Ddaaki abakazi bombi batuuka mu Isiraeri. Eno gye batandika okubeera. Luusi atandikirawo okukola mu nnimiro kubanga kiseera kya kukungula sayiri. Omusajja ayitibwa Bowaazi amuleka okukungula sayiri mu nnimiro ye. Omanyi maama wa Bowaazi? Ye Lakabu ow’omu kibuga Yeriko.

Lumu Bowaazi agamba Luusi: ‘Mpulidde byonna ebikukwatako, era n’engeri gye walaga Nawomi ekisa. Mmanyi engeri gye walekamu taata wo ne maama wo, ensi y’ewammwe era n’engeri gye wajjamu okubeera mu bantu be wali tomanyi. Yakuwa akuwe omukisa!’

Luusi addamu: ‘Ondaze ekisa, ssebo. Mpulidde bulungi bw’oyogedde nange mu ngeri ennungi bw’etyo.’ Bowaazi ayagala nnyo Luusi, era mu kiseera kitono bafumbiriganwa. Kino nga kisanyusa nnyo Nawomi! Naye Nawomi asanyuka nnyo n’okusingawo Luusi ne Bowaazi bwe bafuna omwana waabwe omubereberye, gwe batuuma Obedi. Oluvannyuma Obedi afuuka jjajja wa Dawudi, gwe tujja okuyigako bingi oluvannyuma.

Ekitabo kya Luusi.

Ebibuuzo