Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obweyamo bwa Yefusa

Obweyamo bwa Yefusa

OLUGERO 53

Obweyamo bwa Yefusa

WALI weeyamyeko ate oluvannyuma n’okisanga nga kizibu okutuukiriza obweyamo bwo? Omusajja ono mu kifaananyi yakikola, era eyo ye nsonga lwaki munakuwavu nnyo. Omusajja ono mulamuzi omuzira mu Isiraeri ayitibwa Yefusa.

Yefusa yaliwo mu kiseera ng’Abaisiraeri tebakyasinza Yakuwa. Bazzeemu nate okukola ebibi. N’olwekyo, Yakuwa aleka abantu ba Amoni okubayisa obubi. Kino kireetera Abaisiraeri okukaabirira Yakuwa: ‘Twonoonye mu maaso go. Tukwegayiridde tuwonye!’

Abantu banakuwavu nnyo olw’ebintu ebibi bye bakoze. Balaga nti banakuwavu nga baddamu nate okusinza Yakuwa. Era Yakuwa addamu okubayamba.

Yefusa alondebwa abantu okulwanyisa Abaamoni ababi. Yefusa ayagala nnyo Yakuwa okumuyamba mu lutalo. N’olwekyo yeeyama eri Yakuwa: ‘Singa onoompa obuwanguzi ku Baamoni, omuntu anaasooka okufuluma mu nnyumba yange okunsisinkana nga nkomawo oluvannyuma lw’okuwangula olutalo, nja kumukuwa.’

Yakuwa awuliriza obweyamo bwa Yefusa, era amuyamba okutuuka ku buwanguzi. Yefusa bw’akomawo ewuwe, omanyi omuntu asooka okufuluma okumusisinkana? Ye muwala we, omwana yekka gw’alina. ‘Zinsanze, muwala wange!’ bw’atyo Yefusa bw’agamba. ‘Onnakuwazizza nnyo. Naye nneeyama eri Yakuwa, era siyinza kukyusa kye nneeyama.’

Muwala wa Yefusa bw’amanya obweyamo kitaawe bwe yakola, naye asooka n’anakuwala. Kubanga kitegeeza nti agenda kuleka taata we ne mikwano gye. Naye ajja kumala obulamu bwe bwonna ng’aweereza Yakuwa mu weema ye e Siiro. N’olwekyo agamba kitaawe: ‘Bw’oba weeyamye eri Yakuwa, oteekwa okutuukiriza obweyamo bwo.’

Bwe kityo muwala wa Yefusa agenda e Siiro, era amala obulamu bwe bwonna ng’aweereza Yakuwa mu weema ye. Ennaku nnya mu mwaka abakazi mu Isiraeri bagenda okumukyalira, era basanyuka okubeera naye. Abantu baagala nnyo muwala wa Yefusa kubanga muweereza wa Yakuwa mulungi.

Ekyabalamuzi 10:6-18; 11:1-40.

Ebibuuzo