Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omusajja Asingayo Okuba ow’Amaanyi

Omusajja Asingayo Okuba ow’Amaanyi

OLUGERO 54

Omusajja Asingayo Okuba ow’Amaanyi

OMANYI erinnya ly’omusajja asingayo okuba ow’amaanyi mu bonna abaali babaddewo? Ye mulamuzi ayitibwa Samusooni. Yakuwa y’awa Samusooni amaanyi. Ne Samusooni nga tannazaalibwa, Yakuwa agamba maama we: ‘Mangu ojja kufuna omwana. Ajja kuwoma omutwe mu kununula Isiraeri okuva ku Bafirisuuti.’

Abafirisuuti bantu babi ababeera mu Kanani. Balina abasajja abalwanyi bangi nnyo, era bayisa bubi nnyo Abaisiraeri. Lumu, Samusooni bw’aba agenda Abafirisuuti gye babeera, empologoma ennene ejja gy’ali ng’ewuluguma. Naye Samusooni atta empologoma eyo n’emikono gye gyokka. Era atta ebikumi n’ebikumi by’Abafirisuuti ababi.

Oluvannyuma Samusooni akola omukwano n’omukazi ayitibwa Derira. Abakulembeze b’Abafirisuuti basuubiza nti buli omu ku bo ajja kuwa Derira ebitundu bya ffeeza 1,100 singa ababuulira ekifuula Samusooni okuba ow’omaanyi ennyo. Derira ayagala ssente ezo zonna. Talina mukwano gwa nnamaddala na Samusooni, oba n’abantu ba Katonda. N’olwekyo abuuza Samusooni ekimufuula okuba ow’amaanyi ennyo.

Mu nkomerero, Derira asendasenda Samusooni okumubuulira ekyama ky’amaanyi ge. ‘Enviiri zange tezisalwangako,’ bw’atyo bw’agamba. ‘Okuva bwe nnazaalibwa, Katonda yannonda okuba omuweereza we ow’enjawulo ayitibwa Omunaziri. Singa enviiri zange zisalibwako, mba sikyalina maanyi.’

Derira bw’akitegeera, yeebasa Samusooni ku bisambi bye. Awo ayita omusajja n’amusalako enviiri ze. Samusooni bw’azuukuka, aba takyalina maanyi. Abafirisuuti bajja ne bamukwata. Bamuggyamu amaaso ge gombi, era ne bamufuula omuddu waabwe.

Lumu Abafirisuuti bakola embaga ennene okusinza katonda waabwe Dagoni, era baleeta Samusooni okuva mu kkomera okumusekerera. Mu kiseera kino ekiyiseewo, enviiri za Samusooni zizzeemu okukula nate. Samusooni agamba omulenzi eyali amukutte ku mukono: ‘Leka nkwate ku mpagi eziwaniridde ekizimbe.’ Awo Samusooni asaba Yakuwa amuwe amaanyi, era n’akwata empagi. Ayogerera waggulu: ‘Ka nfiire wamu n’Abafirisuuti.’ Ku mbaga kuliko Abafirisuuti 3,000 era Samusooni bw’asindika empagi, ekizimbe kigwa ne kitta abantu bano bonna ababi.

Ekyabalamuzi essuula 13 okutuuka ku 16.

Ebibuuzo