Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omulenzi Omuto Aweereza Katonda

Omulenzi Omuto Aweereza Katonda

OLUGERO 55

Omulenzi Omuto Aweereza Katonda

OMULENZI ono omuto talabika bulungi? Erinnya lye ye Samwiri. Era omusajja akutte ku mutwe gwa Samwiri ye kabona omukulu owa Isiraeri ayitibwa Eri. Oyo omulala ye taata wa Samwiri, Erukaana, era ne maama we Kaana abaleese Samwiri ewa Eri.

Samwiri alina emyaka ena oba etaano gyokka. Naye ajja kubeera wano mu weema ya Yakuwa ne Eri era ne bakabona abalala. Lwaki Erukaana ne Kaana bawaayo omwana omuto bw’atyo nga Samwiri okuweereza Yakuwa mu weema ye? Ka tulabe.

Emyaka mitono egiyise Kaana yali munakuwavu nnyo. Ensonga yali nti teyalina mwana, ate ng’amwagala nnyo, nnyo. N’olwekyo, lumu Kaana bwe yali agenzeeko mu weema ya Yakuwa, yasaba: ‘Ai Yakuwa, tonneerabira! Singa ompa omwana ow’obulenzi, nneeyama nti nja kumukuwa akuweereze obulamu bwe bwonna.’

Yakuwa yaddamu essaala ya Kaana, era oluvannyuma lw’emyezi egiwerako azaala Samwiri. Kaana yali ayagala nnyo akaana ke akato akalenzi, era yatandika okukayigiriza ku Yakuwa nga kakyali kato nnyo. Yagamba mwami we: ‘Amangu ddala nga Samwiri akuze ekimala nga takyali ku mabeere, nja kumutwala mu weema aweereze Yakuwa.’

Kino kye tulaba Kaana ne Erukaana nga bakola mu kifaananyi. Era olw’okuba Samwiri ayigiriziddwa bulungi bazadde be, musanyufu okuweereza Yakuwa wano mu weema ya Yakuwa. Buli mwaka Kaana ne Erukaana bajja okusinza mu weema eno ey’enjawulo, era n’okukyalira omulenzi waabwe ono omuto. Era buli mwaka Kaana aleetera Samwiri akanagiro akappya kamukoledde.

Emyaka bwe gigenda giyitawo, Samwiri yeeyongera okuweereza mu weema ya Yakuwa, era Yakuwa n’abantu bamwagala nnyo. Naye batabani ba kabona omukulu Eri, abayitibwa Kofuni ne Finekaasi, si bantu balungi. Bakola ebintu ebibi bingi, era ne baleetera n’abalala okujeemera Yakuwa. Eri asaanidde okubaggya ku bwakabona, naye takikola.

Omwana omuto Samwiri takkiriza bintu bino ebibi ebikolebwa mu weema okumulemesa okuweereza Yakuwa. Naye olw’okuba abantu batono nnyo abaagala Yakuwa, wayiseewo ekiseera kiwanvu kasookedde Yakuwa ayogera n’omuntu yenna. Samwiri bwe yeeyongera okukula, kino kye kibaawo:

Samwiri nga yeebase mu weema eddoboozi limuzuukusa. Addamu: ‘Nze nzuuno.’ Era agolokoka n’adduka ewa Eri n’amugamba: ‘Ompise, era nzuuno.’

Naye Eri amuddamu: ‘Sinnakuyita; ddayo weebake.’ Samwiri addayo okwebaka.

Awo eddoboozi limuyita omulundi ogw’okubiri: ‘Samwiri!’ Samwiri azuukuka n’adduka ewa Eri. ‘Ompise era nzuuno,’ bw’atyo bw’agamba. Naye Eri addamu: ‘Sinnakuyita, mwana wange. Ddayo weebake.’ Samwiri addayo okwebaka.

‘Samwiri!’ eddoboozi liyita omulundi ogw’okusatu. Samwiri adduka ewa Eri. ‘Nzuuno, oteekwa okuba ng’ompise omulundi guno,’ bw’atyo bw’agamba. Eri kati amanya nti Yakuwa ateekwa okuba nga yamuyita. Kyava agamba Samwiri: ‘Ddayo weebake, era singa addamu okukuyita, yogera nti: “Yogera, Yakuwa, kubanga omuddu wo awulira.”

Bw’atyo Samwiri bw’ayogera Yakuwa bw’addamu okumuyita. Yakuwa agamba Samwiri nti agenda kubonereza Eri ne batabani be. Oluvannyuma Kofuni ne Finekaasi bafiira mu lutalo nga balwanyisa Abafirisuuti, era Eri bw’awulira ekibaddewo, agwa, ensingo ye n’emenyeka n’afa. Bwe kityo, ekigambo kya Yakuwa kituukirira.

Samwiri akula, era n’afuuka omulamuzi wa Isiraeri eyasembayo. Bw’akaddiwa, abantu bamusaba: ‘Londa kabaka anaatufuga.’ Samwiri tayagala kukola kino, kubanga mazima ddala Yakuwa ye kabaka waabwe. Naye Yakuwa amugamba awulirize abantu.

1 Samwiri 1:1-28; 2:11-36; 4:16-18; 8:4-9.

Ebibuuzo