Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kabaka wa Isiraeri Eyasooka Okutuuka ku Buwambe mu Babulooni

Kabaka wa Isiraeri Eyasooka Okutuuka ku Buwambe mu Babulooni

EKITUNDU 4

Kabaka wa Isiraeri Eyasooka Okutuuka ku Buwambe mu Babulooni

Sawulo yafuuka kabaka wa Isiraeri eyasooka. Naye Yakuwa yamugaana, era Dawudi n’alondebwa okuba kabaka mu kifo kye. Tuyiga ebintu bingi nnyo ebikwata ku Dawudi. Ng’akyali muvubuka, yalwanyisa omusajja omuwagguufu ayitibwa Goliyaasi. Oluvannyuma yadduka Kabaka Sawulo eyamukwatirwa obuggya. Ate Abbigayiri alabika obulungi yamuziyiza okukola ekintu eky’obusiru.

Era, tuyiga ebintu bingi ebikwata ku mutabani wa Dawudi ayitibwa Sulemaani, eyadda mu kifo kya Dawudi nga kabaka wa Isiraeri. Bakabaka ba Isiraeri abasatu abaasooka baafugira emyaka 40 buli omu. Oluvannyuma lw’okufa kwa Sulemaani, Isiraeri yayawulibwamu obwakabaka bwa mirundi ebiri, obwakabaka obw’omu mambuka n’obwakabaka obw’omu maserengeta.

Obwakabaka obw’ebika 10 obw’omu mambuka bwawangaala emyaka 257 ne bulyoka buzikirizibwa Abaasuli. Oluvannyuma lw’emyaka emirala 133, obwakabaka obw’omu maserengeta obw’ebika ebibiri nabwo bwazikirizibwa. Mu kiseera kino Abaisiraeri baatwalibwa mu buwambe e Babulooni. N’olwekyo Ekitundu EKY’OKUNA kikwata ku myaka 510 egy’ebyafaayo, ekiseera mwe tulabira ebintu bingi ebibuguumiriza.