Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Sawulo—Kabaka wa Isiraeri Eyasooka

Sawulo—Kabaka wa Isiraeri Eyasooka

OLUGERO 56

SawuloKabaka wa Isiraeri Eyasooka

LABA Samwiri afuka amafuta ku mutwe gw’omusajja. Kino kye baakolanga ku muntu okulaga nti alondeddwa okuba kabaka. Yakuwa agamba Samwiri okufuka amafuta ku mutwe gwa Sawulo. Gano mafuta ga njawulo agawunya akawoowo akalungi.

Sawulo teyalowooza nti yali asaanira okubeera kabaka. ‘Ndi wa kika kya Benyamini, ekika ekisingayo obutono mu Isiraeri,’ bw’atyo bw’agamba Samwiri. ‘Lwaki ogamba nti nja kuba kabaka?’ Yakuwa ayagala Sawulo kubanga teyeegulumiza. Ye nsonga lwaki Amulonze okuba kabaka.

Naye Sawulo si musajja mwavu oba omutono. Ava mu maka magagga, era alabika bulungi nnyo, musajja muwanvu. Asinga abasajja bonna ab’omu Isiraeri ffuuti ng’emu obuwanvu! Sawulo muddusi wa kitalo era musajja wa maanyi nnyo. Abantu basanyufu kubanga Yakuwa alonze Sawulo okuba kabaka waabwe. Bonna boogerera waggulu nti: ‘Wangaala kabaka!’

Abalabe ba Isiraeri ba maanyi nnyo nga bwe kibadde mu biseera eby’emabega. Bakyaleetera Abaisiraeri emitawaana mingi nnyo. Amangu ddala nga Sawulo amaze okufuulibwa kabaka, Abaamoni bajja okulwana nabo. Naye Sawulo akuŋŋaanya eggye eddene, era n’awangula Abaamoni. Abantu basanyuka nnyo olw’okuba Sawulo kabaka.

Emyaka bwe gigenda giyitawo, Sawulo akulembera Abaisiraeri ne bawangula abalabe baabwe. Sawulo era alina mutabani we omuzira ayitibwa Yonasaani. Yonasaani ayamba Abaisiraeri okuwangula entalo nnyingi. Abafirisuuti be balabe b’Abaisiraeri abasingayo obubi. Lumu enkumi n’enkumi z’Abafirisuuti bajja okulwanyisa Abaisiraeri.

Samwiri agamba Sawulo alindeko okutuusa bw’anajja aweeyo ssaddaaka, oba ekirabo, eri Yakuwa. Naye Samwiri alwawo okujja. Sawulo atya nti Abafirisuuti bagenda kutandika olutalo, n’olwekyo ye kennyini awaayo ekiweebwayo. Samwiri bw’ajja, agamba Sawulo nti abadde mujeemu. ‘Yakuwa ajja kulonda omuntu omulala okuba kabaka wa Isiraeri,’ bw’atyo Samwiri bw’agamba.

Oluvannyuma Sawulo addamu okujeema. Samwiri amugamba: ‘Kisingako obulungi okugondera Yakuwa okusinga okumuwa ekirabo ky’endiga esingayo obulungi. Olw’okuba togondedde Yakuwa, Yakuwa tajja kukuleka kubeera kabaka wa Isiraeri.’

Tulina ekintu ekirungi kye tuyigira ku kino. Kitulaga bwe kiri ekikulu ennyo okugondera Yakuwa buli kiseera. Era, kiraga nti omuntu omulungi, nga Sawulo bwe yali okusooka, ayinza okukyuka n’afuuka omubi. Tetwagala kufuuka babi, si bwe kiri?

1 Samwiri essuula 9 okutuuka ku 1 Samwiri essuula 11; 1 Samwiri essuula 13:5-14; 1 Samwiri essuula 14:47-52; 1 Samwiri essuula 15:1-35; 2 Samwiri 1:23.

Ebibuuzo