Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abbigayiri ne Dawudi

Abbigayiri ne Dawudi

OLUGERO 60

Abbigayiri ne Dawudi

OMANYI omukazi oyo afaanana obulungi ajja okusisinkana Dawudi? Erinnya lye ye Abbigayiri. Wa magezi era aziyiza Dawudi okukola ekintu ekibi. Naye nga tetunnaba kuyiga ku ekyo, ka tusooke tulabe ebibadde bituuka ku Dawudi.

Oluvannyuma lwa Dawudi okudduka Sawulo, yeekweka mu mpuku. Baganda be n’ab’eŋŋanda ze abalala bamwegattako. Bonna awamu abasajja nga 400 bamwegattako, era Dawudi afuuka omukulembeze waabwe. Dawudi agenda eri kabaka wa Mowaabu n’amugamba: ‘Nkusaba okkirize kitange ne mmange babeere wano okutuusa lwe nnaamanya ekinaantuukako.’ Oluvannyuma Dawudi n’abasajja be beekweka mu nsozi.

Kyali luvannyuma lwa kino Dawudi n’asisinkana Abbigayiri. Mwami we Nabali musajja mugagga alina ettaka ery’obwanannyini. Alina endiga 3,000 n’embuzi 1,000. Nabali musajja mubi. Naye mukazi we Abbigayiri alabika bulungi nnyo. Era, amanyi ekituufu eky’okukola. Lumu awonya n’ab’omu maka ge. Ka tulabe mu ngeri ki.

Dawudi n’abasajja be babadde ba kisa nnyo eri Nabali. Bamuyambye okukuuma endiga ze. Lumu, Dawudi atuma abasajja be okufuna obuyambi ewa Nabali. Abasajja ba Dawudi bagenda ewa Nabali era bamusanga ng’asala ebyoya ku ndiga ze wamu n’abaweereza be. Lunaku lwa mbaga, era Nabali alina eby’okulya ebirungi bingi. Bwe bati abasajja ba Dawudi bwe bagamba: ‘Tubadde ba kisa gy’oli. Tetubbye n’emu ku ndiga zo, naye tukuyambye okuzirabirira. Kaakati, tukusaba otuweeyo ku mmere.’

‘Sijja kuwa mmere yange basajja nga mmwe,’ bw’atyo Nabali bw’agamba. Ayogera bubi nnyo era ayogera ebintu ebibi ku Dawudi. Abasajja bwe baddayo ne babuulira Dawudi ebibaddewo, Dawudi asunguwala nnyo. ‘Mukwate ebitala byammwe!’ bw’atyo bw’agamba abasajja be. Era bagenda okutta Nabali n’abasajja be.

Omu ku basajja ba Nabali eyawulira ebigambo ebibi Nabali bye yayogera, ategeeza Abbigayiri ebibaddewo. Amangu ago, Abbigayiri ateekateeka emmere. Agitikka ku ndogoyi, n’atandika olugendo lwe. Bw’asisinkana Dawudi, ava ku ndogoyi ye, n’avuunama wansi era n’agamba: ‘Ssebo, tossa mwoyo ku bigambo bya mwami wange Nabali. Musirusiru, era akola ebintu eby’obusiru. Ekirabo kiikino. Nkusaba okitwale, era otusonyiwe olw’ebyo ebibaddewo.’

‘Oli mukazi wa magezi,’ bw’atyo Dawudi bw’addamu. ‘Onziyizza okutta Nabali okumusasula olw’obubi bwe. Kati ddayo ewammwe mu mirembe.’ Oluvannyuma, Nabali ng’afudde, Abbigayiri afuuka omu ku bakazi ba Dawudi.

1 Samwiri 22:1-4; 25:1-43.

Ebibuuzo