Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omuwala Ayamba Omusajja ow’Amaanyi

Omuwala Ayamba Omusajja ow’Amaanyi

OLUGERO 69

Omuwala Ayamba Omusajja ow’Amaanyi

OMANYI omuwala omuto ono ky’ayogera? Abuulira omukyala oyo ebikwata ku nnabbi wa Yakuwa Erisa, era n’ebintu eby’ekitalo Yakuwa by’amuyamba okukola. Omukyala ono tamanyi bikwata ku Yakuwa kubanga si Muisiraeri. Ka tulabe, lwaki omuwala ono ali mu maka g’omukyala ono.

Omukyala Musuuli. Omwami we ye Naamani, omukulu w’eggye lya Busuuli. Abasuuli baali bawambye omuwala ono omuto Omuisiraeri, era ne bamuleeta okuweereza muka Naamani.

Naamani alina obulwadde obubi obuyitibwa ebigenge. Obulwadde buno buyinza n’okukutulako ebitundu by’omubiri gw’omuntu. Bino omuwala ono by’agamba muka Naamani: ‘Singa mukama wange agenda eri nnabbi wa Yakuwa mu Isiraeri. Yandimuwonyezza ebigenge bye.’ Oluvannyuma, bino bibuulirwa bba w’omukyala.

Naamani ayagala nnyo okuwonyezebwa; n’olwekyo asalawo okugenda mu Isiraeri. Ng’atuuseeyo, agenda ku nnyumba ya Erisa. Erisa atuma omuweereza we okugamba Naamani agende anaabe emirundi musanvu mu Mugga Yoludaani. Kino kinyiiza nnyo Naamani, era agamba: ‘Emigga gy’ewaffe gisinga emigga gyonna egy’omu Isiraeri!’ Ng’amaze okwogera bino, Naamani akyuka n’agenda.

Naye omu ku baweereza be amugamba: ‘Ssebo, singa Erisa akugambye okukola ekintu ekizibu ennyo, wandikikoze. Kati lwaki tonaaba, nga bw’agambye?’ Naamani awuliriza omuweereza we era n’agenda ne yennyika mu Mugga Yoludaani emirundi musanvu. Bw’akikola, omubiri gwe gulongooka ne guddawo!

Naamani musanyufu nnyo. Addayo ewa Erisa n’amugamba: ‘Kati mmanyi nti Katonda wa Isiraeri ye Katonda yekka ow’amazima mu nsi yonna. Nkusaba, twala ekirabo kino.’ Naye Erisa addamu: ‘Nedda, sijja kukitwala.’ Erisa akimanyi nti kikyamu okutwala ekirabo ekyo, kubanga Yakuwa ye yali awonyezza Naamani. Naye omuddu wa Erisa, Gekazi, ayagala okutwala ekirabo kino.

N’olwekyo Gekazi akola bw’ati. Nga Naamani amaze okugenda, Gekazi adduka okumusanga. ‘Erisa antumye nkugambe nti ayagala ebimu ku birabo ebyo abiwe mikwano gye abaakajja okumukyalira,’ bw’atyo Gekazi bw’amugamba. Kya lwatu buno bulimba. Naye Naamani tamanyi nti bulimba; bwe kityo awa Gekazi ebimu ku bintu.

Gekazi bw’addayo eka, Erisa amanya ky’akoze. Yakuwa akimubuulidde. Amugamba: ‘Kubanga okoze ekintu kino ekibi, ebigenge bya Naamani bijja kukwata.’ Era bimukwatirawo!

Tuyiga ki ku bino byonna? Okusooka, tulina okuba ng’omuwala oyo omuto ne twogera ku Yakuwa. Kiyinza okuvaamu ebirungi bingi. Eky’okubiri, tetuteekwa kuba ba malala nga Naamani bwe yali mu kusooka, naye tusaanidde okugondera abaweereza ba Katonda. N’eky’okusatu, tetuteekwa kulimba nga Gekazi bwe yakola. Tetuyiga bingi nnyo nga tusoma Baibuli?

2 Bassekabaka 5:1-27.

Ebibuuzo