Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Kabaka wa Isiraeri Omulungi Eyasembayo

Kabaka wa Isiraeri Omulungi Eyasembayo

OLUGERO 73

Kabaka wa Isiraeri Omulungi Eyasembayo

YOSIYA aba alina emyaka munaana gyokka w’afuukira kabaka w’ebika ebibiri ebya Isiraeri eby’omu maserengeta. Ku myaka egyo omuntu aba akyali muto nnyo okuba kabaka. N’olwekyo, mu kusooka abantu abakulu bamuyamba okufuga eggwanga.

Nga Yosiya yaakafugira emyaka musanvu atandika okunoonya Yakuwa. Agoberera ekyokulabirako kya bakabaka abalungi nga Dawudi, Yekosofaati, ne Keezeekiya. Era, ng’akyali mutiini, Yosiya akola ekintu eky’obuzira.

Okumala ekiseera kiwanvu Abaisiraeri abasinga obungi babadde babi nnyo. Basinza bakatonda ab’obulimba. Bavunnamira ebifaananyi. N’olwekyo, Yosiya agenda n’abasajja be ne batandika okuggyawo okusinza okw’obulimba mu ggwanga. Guno mulimu gwa maanyi kubanga abantu bangi basinza bakatonda ab’obulimba. Osobola okulaba Yosiya n’abasajja be nga bamenyaamenya ebifaananyi.

Oluvannyuma lw’ekyo, Yosiya alonda abasajja basatu okulabirira omulimu gw’okuddaabiriza yeekaalu ya Yakuwa. Ssente zikuŋŋaanyizibwa okuva mu bantu ne ziweebwa abasajja bano okusasulira omulimu ogukolebwa. Nga baddaabiriza yeekaalu, kabona omukulu Kirukiya azuula ekintu ekikulu ennyo. Kye kitabo ky’amateeka Yakuwa kye yagamba Musa okuwandiika mu biseera eby’edda ennyo. Kyali kibuze okumala emyaka mingi nnyo.

Ekitabo kitwalibwa ewa Yosiya, era asaba kimusomerwe. Ng’awuliriza, Yosiya alaba nti abantu babadde tebagoberera mateeka ga Yakuwa. Kino kimunakuwaza nnyo, era ayuzayuzaamu engoye ze, nga bw’oyinza okulaba wano. Agamba: ‘Yakuwa atunyiigidde nnyo, kubanga bakitaffe tebaakwata mateeka agaawandiikiddwa mu kitabo kino.’

Yosiya alagira kabona omukulu Kirukiya okuzuula ekyo Yakuwa ky’agenda okubakola. Kirukiya agenda eri omukazi ayitibwa Kuluda, nnabbi omukazi, n’amubuuza. Amubuulira obubaka buno okuva eri Yakuwa abutwalire Yosiya: ‘Yerusaalemi n’abantu bonna bajja kubonerezebwa kubanga basinzizza bakatonda ab’obulimba era ensi ejjudde obubi. Naye, olw’okuba ggwe Yosiya, okoze ebirungi, ekibonerezo kino tekijja kubaawo okutuusa ng’omaze okufa.’

2 Ebyomumirembe 34:1-28.

Ebibuuzo