Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omusajja Atatya

Omusajja Atatya

OLUGERO 74

Omusajja Atatya

TUNUULIRA abantu abasekerera omusajja ono. Omumanyi? Ye Yeremiya. Nnabbi wa Katonda omukulu ennyo.

Amangu ddala nga Kabaka Yosiya atandise okuggyawo ebifaananyi mu nsi, Yakuwa agamba Yeremiya okuba nnabbi We. Kyokka, ye Yeremiya alowooza nti akyali muto nnyo okuba nnabbi. Naye Yakuwa amugamba nti Ajja kumuyamba.

Yeremiya agamba Abaisiraeri okulekera awo okukola ebintu ebibi. ‘Bakatonda ab’amawanga be basinza ba bulimba,’ bw’atyo bw’agamba. Naye Abaisiraeri bangi, basalawo okusinza ebifaananyi mu kifo kya Katonda ow’amazima Yakuwa. Yeremiya bw’agamba abantu nti Katonda ajja kubabonereza olw’obubi bwabwe, bamusekerera busekerezi.

Emyaka giyitawo. Yosiya afa, era oluvannyuma lw’emyezi esatu mutabani we Yekoyaakimu afuuka kabaka. Yeremiya yeeyongera okubuulira abantu: ‘Yerusaalemi kijja kuzikirizibwa singa temukyusa makubo gammwe amabi.’ Bakabona bakwata Yeremiya era ne bagamba: ‘Osaanidde okuttibwa olw’okwogera ebintu bino.’ Awo ne bagamba abalangira ba Isiraeri: ‘Yeremiya asaanidde okuttibwa, kubanga ayogedde bubi ku kibuga kyaffe.’

Kati Yeremiya anaakola ki? Tatidde! Bonna abagamba: ‘Yakuwa y’antumye mbategeeze ebintu bino. Singa temukyusa makubo gammwe amabi, Yakuwa ajja kuzikiriza Yerusaalemi. Naye mubeere bakakafu ku kino: Singa munzitta, mujja kuba musse omusajja atalina musango.’

Abalangira baleka Yeremiya, naye Abaisiraeri tebakyusa makubo gaabwe amabi. Oluvannyuma, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, ajja n’alwanagana ne Yerusaalemi. Mu nkomerero Nebukadduneeza afuula Abaisiraeri abaddu be. Atwala enkumi n’enkumi e Babulooni. Teeberezaamu bwe kyandibadde ng’abantu b’otomanyi bakuggya ewammwe ne bakutwala mu kifo ky’otamanyi!

Yeremiya 1:1-8; 10:1-5; 26:1-16; 2 Bassekabaka 24:1-17.

Ebibuuzo