Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yerusaalemi Kizikiriziddwa

Yerusaalemi Kizikiriziddwa

OLUGERO 76

Yerusaalemi Kizikiriziddwa

KATI wayiseewo emyaka egisukka mu 10 okuva kabaka Nebukadduneeza bwe yatwala Abaisiraeri abasingayo obuyigirize e Babulooni. Naye kati laba ekiriwo! Yerusaalemi kyokebwa. Era Abaisiraeri abatattiddwa batwalibwa ng’abasibe e Babulooni.

Jjukira nti, kino bannabbi ba Yakuwa kye baalagula nti kijja kubaawo singa abantu tebakyusa makubo gaabwe amabi. Naye Abaisiraeri tebaawuliriza bannabbi. Beeyongera okusinza bakatonda ab’obulimba mu kifo kya Yakuwa. N’olwekyo abantu bagwanidde okubonerezebwa. Kino tukimanyi kubanga nnabbi wa Katonda Ezeekyeri atubuulira ku bintu ebibi Abaisiraeri bye baali bakola.

Ezeekyeri omumanyi? Y’omu ku bavubuka kabaka Nebukadduneeza be yatwala e Babulooni emyaka egisukka mu 10 emabega ng’okuzikirizibwa kwa Yerusaalemi kuno okw’amaanyi tekunnabaawo. Danyeri ne mikwano gye abasatu, Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego, nabo baatwalibwa e Babulooni mu kiseera kye kimu.

Nga Ezeekyeri akyali e Babulooni, Yakuwa amulaga ebintu ebibi ebikolebwa mu yeekaalu y’omu Yerusaalemi. Kino Yakuwa akikola mu ngeri ey’ekyamagero. Ezeekyeri akyali mu Babulooni, naye Yakuwa amusobozesa okulaba byonna ebikolebwa mu yeekaalu. Era Ezeekyeri by’alaba byesisiwaza!

‘Laba ebintu eby’omuzizo abantu bye bakolera wano mu yeekaalu,’ bw’atyo Yakuwa bw’agamba Ezeekyeri. ‘Laba ebisenge ebiriko ebifaananyi by’emisota n’ebisolo ebirala. Era laba Abaisiraeri ababisinza!’ Ezeekyeri asobola okulaba ebintu bino era abiwandiika.

‘Olaba abakulembeze ba Isiraeri bye bakola mu kyama?’ Yakuwa abuuza Ezeekyeri. Yee, na bino abiraba. Waliwo abasajja 70, era bonna basinza bakatonda ab’obulimba. Bagamba: ‘Yakuwa tatulaba. Avudde mu nsi.’

Era Yakuwa alaga Ezeekyeri abakazi abali ku wankaaki wa yeekaalu ow’omu bukiika kkono. Batudde eyo nga basinza katonda ow’obulimba Tammuzi. Era laba abasajja abo abali ku mulyango gwa yeekaalu ya Yakuwa! Balinga 25. Ezeekyeri abalaba. Bavunnamye nga batunudde ebuvanjuba nga basinza enjuba!

‘Abantu bano tebampa kitiibwa,’ bw’atyo Yakuwa bw’agamba. ‘Tebakoma ku kukola bintu bibi kyokka wabula bajja ne mu yeekaalu yange ne babikoleramu!’ N’olwekyo, Yakuwa asuubiza: ‘Bajja kulaba obusungu bwange. Era sijja kubasaasira nga bazikirizibwa.’

Nga waakayitawo emyaka esatu gyokka oluvannyuma lwa Yakuwa okulaga Ezeekyeri ebintu bino, Abaisiraeri bajeemera Kabaka Nebukadduneeza. N’olwekyo agenda okubalwanyisa. Oluvannyuma lw’omwaka gumu n’ekitundu Abababulooni bamenya bbugwe wa Yerusaalemi era ne bookya ekibuga kyonna. Abantu abasinga obungi battibwa oba batwalibwa ng’abasibe e Babulooni.

Lwaki Yakuwa akkirizza okuzikirizibwa okw’amaanyi bwe kuti okutuuka ku Baisiraeri? Yee, lwakuba tebawulirizza Yakuwa era tebagondedde mateeka ge. Kino kiraga obukulu bw’okukola Katonda by’agamba.

Mu kusooka abantu batono bakkirizibwa okusigala mu nsi ya Isiraeri. Kabaka Nebukadduneeza alonda Omuyudaaya ayitibwa Gedaliya okukulira abantu bano. Naye Abaisiraeri abamu batemula Gedaliya. Kati abantu batya nti Abababulooni bajja kujja babazikirize olw’ekintu kino ekibi ekibaddewo. Bwe kityo bakaka Yeremiya okugenda nabo, era baddukira e Misiri.

Kino kireetera ensi ya Isiraeri obutabeeramu muntu n’omu. Okumala emyaka 70 tewali n’omu abeera mu nsi. Nkalu ddala. Naye Yakuwa asuubiza nti ajja kukomyawo abantu be mu nsi eyo oluvannyuma lw’emyaka 70. Ekyo nga tekinnabaawo, kiki ekituuka ku bantu ba Katonda nga bali mu nsi y’e Babulooni gye batwaliddwa? Ka tulabe.

2 Bassekabaka 25:1-26; Yeremiya 29:10; Ezeekyeri 1:1-3; 8:1-18.

Ebibuuzo