Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obuwambe e Babulooni Okutuuka ku Kuddamu Okuzimba Bbugwe wa Yerusaalemi

Obuwambe e Babulooni Okutuuka ku Kuddamu Okuzimba Bbugwe wa Yerusaalemi

EKITUNDU 5

Obuwambe e Babulooni Okutuuka ku Kuddamu Okuzimba Bbugwe wa Yerusaalemi

Nga bali mu buwambe e Babulooni, Abaisiraeri baafuna okugezesebwa kungi eri okukkiriza kwabwe. Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego baasuulibwa mu kikoomi ky’omuliro, naye Katonda yabaggyamu nga balamu. Oluvannyuma, nga Babulooni kimaze okuwambibwa Abameedi n’Abaperusi, Danyeri yasuulibwa mu kinnya ky’empologoma, naye Katonda yamukuuma ng’aziba emimwa gy’empologoma.

Mu nkomerero, kabaka w’Abaperusi ayitibwa Kuulo yasumulula Abaisiraeri. Baddayo ku butaka oluvannyuma lw’emyaka 70 okuva lwe baatwalibwa e Babulooni ng’abawambe. Ekimu ku bintu bye baasooka okukola nga bazzeeyo e Yerusaalemi kyali okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. Kyokka, mangu ddala abalabe baayimiriza omulimu gwabwe. N’olwekyo kyali luvannyuma lwa myaka 22 nga bamaze okuddayo e Yerusaalemi ne balyoka bamaliriza yeekaalu.

Ekiddako, tuyiga ku lugendo lwa Ezera ng’addayo e Yerusaalemi okulongoosa yeekaalu. Kino kyaliwo nga waakayitawo emyaka 47 okuva yeekaalu bwe yamalirizibwa. Awo nno, emyaka 13 oluvannyuma lw’olugendo lwa Ezera, Nekkemiya yayamba okuzimba bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyese. Ekitundu EKY’OKUTAANO kikwata ku myaka 152 egy’ebyafaayo okutuukira ddala mu kiseera ekyo.