Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Baagaana Okuvuunama

Baagaana Okuvuunama

OLUGERO 77

Baagaana Okuvuunama

OJJUKIRA okuwulirako ku bavubuka bano abasatu? Yee, gye mikwano gya Danyeri abaagaana okulya emmere gye baali batasaanidde kulya. Abababulooni baabatuuma Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego. Naye batunuulire kati. Lwaki tebavuunamidde kifaananyi kino ekinene ng’abalala? Ka tukizuule.

Ojjukira amateeka Yakuwa kennyini ge yawandiika agayitibwa Amateeka Ekkumi? Erisooka ku go lye lino: ‘Tosinzanga bakatonda balala okuggyako nze.’ Abavubuka bano bagondera etteeka lino, wadde nga si kyangu okukikola.

Nebukadduneeza, kabaka wa Babulooni, ayise abantu bangi nnyo abakulu okuwa ekitiibwa ekifaananyi kino ky’ataddewo. Yaakamala okugamba abantu bonna: ‘Bwe muwulira eddoboozi ly’eŋŋombe, ennanga, n’ebivuga ebirala, mulina okuvuunama musinze ekifaananyi kino ekya zaabu. Omuntu yenna atavuunama era n’asinza ajja kusuulibwa mu kikoomi ky’omuliro.’

Nebukadduneeza bw’ateegera nti Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego tebavuunamidde kifaananyi ekyo, asunguwala nnyo. Alagira babaleete gy’ali. Abawa omukisa omulala okukivuunamira. Naye abavubuka beesiga Yakuwa. ‘Katonda waffe gwe tusinza asobola okutuwonya,’ bwe batyo bwe bagamba Nebukadduneeza. ‘Naye ne bw’ataatuwonye, tetujja kuvunnamira kifaananyi kyo ekya zaabu.’

Bw’awulira bino, Nebukadduneeza yeeyongera okusunguwala. Waliwo ekikoomi ky’omuliro okumpi awo era alagira: ‘Mukume omuliro gwake emirundi musanvu okusinga bwe gubadde!’ Awo alagira abasajja abasingayo amaanyi mu ggye lye basibe Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego era babasuule mu kikoomi ky’omuliro. Ekikoomi kyaka nnyo ne kiviirako abasajja ab’amaanyi okwokebwa omuliro ne bafa. Naye ate bo abavubuka abasatu be basudde mu muliro?

Kabaka atunula mu kikoomi ky’omuliro, era n’atya nnyo. ‘Tetwasibye abasajja basatu ne tubasuula mu kikoomi ky’omuliro?’ bw’atyo bw’abuuza.

‘Yee, bwe twakoze,’ abaweereza be bwe batyo bwe baddamu.

‘Naye ndaba abasajja bana abatambulatambula mu muliro’ bw’atyo bw’agamba. ‘Tebasibiddwa, era n’omuliro tegubookya. Era ow’okuna afaanana nga katonda.’ Kabaka asemberera omulyango gw’ekikoomi ky’omuliro n’agamba: ‘Saddulaaki! Mesaki! Abeduneego! Muveeyo, mmwe abaweereza ba Katonda Ali Waggulu Ennyo!’

Bwe bavaayo, buli omu alaba nti tewali kabi kabatuuseeko. Awo kabaka agamba: ‘Katonda wa Saddulaaki, Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe! Atumye malayika we n’abawonya kubanga bagaanyi okuvuunamira n’okusinza katonda omulala yenna okuggyako owaabwe.’

Kino si kyakulabirako kirungi eky’okukuuma obwesigwa eri Yakuwa kye tusaanidde okugoberera?

Okuva 20:3; Danyeri 3:1-30.

Ebibuuzo