Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abantu ba Katonda Bava e Babulooni

Abantu ba Katonda Bava e Babulooni

OLUGERO 80

Abantu ba Katonda Bava e Babulooni

WAAKAYITAWO emyaka ng’ebiri kasookedde Babulooni kiwambibwa Abameedi n’Abaperusi. Era laba ekiriwo kati! Yee, Abaisiraeri bava e Babulooni. Basobodde batya okulekebwa okuvaayo? Ani abakkirizza okugenda?

Kuulo, kabaka wa Buperusi, y’abakkiriza. Dda nnyo nga Kuulo tannazaalibwa, Yakuwa yalagira nnabbi we Isaaya okumuwandiikako: ‘Ojja kukola ekyo kyennyini kye njagala okole. Enzigi zijja kulekebwa nga nziggule owambe ekibuga.’ Era Kuulo yatwala obukulembeze mu kuwamba Babulooni. Abameedi n’Abaperusi bayingira mu kibuga ekiro nga bayitira mu nzigi ezaalekebwa nga nziggule.

Naye nnabbi wa Yakuwa, Isaaya, yagamba nti Kuulo yandiwadde ekiragiro eky’okuddamu okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo. Kuulo yawa ekiragiro kino? Yee, yakiwa. Kuulo agamba bw’ati Abaisiraeri: ‘Mugende kati e Yerusaalemi, muzimbe yeekaalu ya Yakuwa, Katonda wammwe.’ Era kino kyennyini Abaisiraeri kye bagenda okukola.

Naye Abaisiraeri bonna abali mu Babulooni tebasobola kutindigga lugendo luwanvu kuddayo e Yerusaalemi. Lugendo luwanvu nnyo olwa mayiro nga 500 (kiromita 800) era bangi bakadde nnyo oba balwadde nnyo okusobola okutambula olugendo oluwanvu bwe lutyo. Era waliwo n’ensonga endala lwaki abamu tebaddayo. Naye Kuulo agamba abo abataddayo: ‘Muwe ffeeza ne zaabu n’ebirabo ebirala abo abagenda okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu yaakyo.’

N’olwekyo, ebirabo bingi biweebwa Abaisiraeri abaddayo e Yerusaalemi. Era, Kuulo abawa ebibya n’ebikopo kabaka Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu ya Yakuwa bwe yazikiriza Yerusaalemi. Abantu balina ebintu bingi eby’okuddayo nabyo.

Oluvannyuma lw’okutambulira emyezi ng’ena, Abaisiraeri batuuka mu Yerusaalemi mu kiseera kyennyini. Kati waakayitawo emyaka 70 okuva ekibuga bwe kyazikirizibwa, era ensi tebaddemu muntu yenna. Naye wadde ng’Abaisiraeri bakomyewo mu nsi yaabwe bajja kufuna ebizibu, nga bwe tujja okuddako okuyiga.

Isaaya 44:28; 45:1-4; Ezera 1:1-11.

Ebibuuzo