Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okwesiga Obuyambi bwa Katonda

Okwesiga Obuyambi bwa Katonda

OLUGERO 81

Okwesiga Obuyambi bwa Katonda

ENKUMI n’enkumi z’abantu batindigga olugendo oluwanvu okuva e Babulooni okugenda e Yerusaalemi. Naye bwe batuuka, Yerusaalemi kiri matongo. Tekiriimu muntu yenna. Abaisiraeri balina okuddamu okuzimba buli kimu.

Ekimu ku bintu bye basooka okuzimba kye kyoto. Kino kifo we bayinza okuweerayo ebiweebwayo by’ensolo, oba ebirabo, eri Yakuwa. Oluvannyuma lw’emyezi mitono, Abaisiraeri batandika okuzimba yeekaalu. Naye abalabe baabwe abali mu nsi eziriraanyewo tebaagala Baisiraeri bagizimbe. N’olwekyo bagezaako okubatiisatiisa balekere awo. Mu nkomerero, abalabe bano bafukuutirira kabaka wa Buperusi omuppya okuteekawo etteeka eriyimiriza omulimu guno ogw’okuzimba.

Emyaka gyekulungulula. Kati waakayitawo emyaka 17 kasookedde Abaisiraeri bakomawo okuva e Babulooni. Yakuwa atuma bannabbi be Kaggayi ne Zekkaliya okugamba abantu okuddamu okuzimba. Abantu beesiga obuyambi bwa Katonda, era bagondera bannabbi. Baddamu okuzimba, wadde ng’etteeka ligamba nti tebalina kukikola.

Bwe kityo, omukungu Omuperusi ayitibwa Tattenayi ajja n’abuuza Abaisiraeri gye baggye obuyinza okuzimba yeekaalu. Abaisiraeri bamugamba nti bwe baali e Babulooni, Kabaka Kuulo yabagamba: ‘Mugende, kati, e Yerusaalemi era muzimbe yeekaalu ya Yakuwa, Katonda wammwe.’

Tattenayi aweereza ebbaluwa e Babulooni n’abuuza obanga Kuulo kati eyali afudde, ddala yalagira bw’atyo. Mangu ddala bafuna ebbaluwa okuva eri kabaka omuppya owa Buperusi. Egamba nti ddala Kuulo yalagira bw’atyo. Era kabaka awandiika: ‘Leka Abaisiraeri bazimbe yeekaalu ya Katonda waabwe. Era nkulagira obayambeko.’ Mu myaka ng’ena yeekaalu emalirizibwa, era Abaisiraeri basanyufu nnyo.

Wayitawo emyaka emirala mingi. Kati waakayitawo emyaka 48 okuva yeekaalu lwe yamalirizibwa. Abantu mu Yerusaalemi baavu, era ekibuga ne yeekaalu ya Katonda tebirabika bulungi. Ng’ali e Babulooni, Omuisiraeri ayitibwa Ezera amanya ku bwetaavu bw’okuddaabiriza yeekaalu ya Katonda. Omanyi ky’akola?

Ezera agenda ewa Alutagizerugizi, kabaka wa Buperusi, era kabaka ono omulungi awa Ezera ebirabo bingi eby’okutwala e Yerusaalemi. Ezera asaba Abaisiraeri abali e Babulooni okumuyambako okutwala ebirabo bino e Yerusaalemi. Abantu nga 6,000 bagamba nti bajja kugenda. Balina ffeeza ne zaabu mungi nnyo era n’ebintu ebirala eby’omuwendo eby’okutwala.

Ezera mweraliikirivu, kubanga ekkubo ery’okuyitamu lirimu abasajja ababi. Abasajja bano bayinza okubatwalako ffeeza waabwe ne zaabu, era n’okubatta. N’olwekyo Ezera akuŋŋaanya abantu, nga bw’olaba mu kifaananyi kino. Awo basaba Yakuwa okubakuuma mu lugendo lwabwe oluwanvu nga baddayo e Yerusaalemi.

Yakuwa abakuuma. Era oluvannyuma lw’okutambulira emyezi ena batuuka bulungi e Yerusaalemi. Kino tekiraga nti Yakuwa asobola okukuuma abo abamwesiga?

Ezera essuula 2 okutuuka ku 8.

Ebibuuzo