Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Moluddekaayi ne Eseza

Moluddekaayi ne Eseza

OLUGERO 82

Moluddekaayi ne Eseza

KA TUTUNULEKO emabega emyaka mitono nga Ezera tannagenda Yerusaalemi. Moluddekaayi ne Eseza be Baisiraeri abasingayo obukulu mu bwakabaka bwa Buperusi. Eseza ye kkwini, ate Moluddekaayi kizibwe we yaddirira kabaka mu buyinza. Ka tulabe engeri kino gye kyajjawo.

Bazadde ba Eseza baafa ng’akyali muto nnyo, era n’olwekyo Moluddekaayi y’amukuzizza. Akaswero, kabaka wa Buperusi, alina olubiri mu kibuga Susani, era Moluddekaayi y’omu ku baweereza be. Lumu, muka kabaka ayitibwa Vasuti amujeemera, bwe kityo kabaka alonda omukazi omulala okuba kkwini we. Omanyi omukazi gw’alonda? Yee, Eseza omuto alabika obulungi ennyo.

Olaba omusajja ono ow’amalala abantu gwe bavuunamira? Ye Kamani. Muntu wa kitiibwa nnyo mu Buperusi. Kamani ayagala Moluddekaayi, oyo gw’olaba atudde awo, okumuvuunamira. Naye Moluddekaayi takikola. Talowooza nti kituufu okuvuunamira omusajja ng’oyo omubi. Kino kinyiiza nnyo Kamani. Era akola bw’ati.

Kamani abuulira kabaka eby’obulimba ku Baisiraeri. ‘Bantu babi nnyo abatagondera mateeka go’ bw’atyo bw’agamba. ‘Basaanidde okuttibwa.’ Akaswero tamanyi nti mukazi we Eseza Muisiraeri. Bwe kityo, awuliriza Kamani, era etteeka liyisibwa nti ku lunaku olutegekeddwa Abaisiraeri bonna balina okuttibwa.

Moluddekaayi bw’awulira ku tteeka lino, anakuwala nnyo. Aweereza Eseza obubaka: ‘Oteekwa okubuulira kabaka, era omwegayirire atuwonye.’ Mu mateeka g’Abaperusi tekikkirizibwa okugenda ewa kabaka okuggyako ng’oyitiddwa. Naye Eseza agendayo nga tayitiddwa. Kabaka amugololera omuggo gwe ogwa zaabu, ekitegeeza nti tajja kuttibwa. Eseza ayita kabaka ne Kamani ku kijjulo ekinene. Nga bali ku kijjulo ekyo kabaka abuuza Eseza ky’ayagala amukolere. Eseza amugamba nti ajja kumubuulira singa ye ne Kamani bajja ku kijjulo ekirala olunaku oluddako.

Nga bali ku kijjulo ekyo Eseza agamba kabaka: ‘Nze n’abantu bange tuli ba kuttibwa.’ Kabaka asunguwala nnyo. ‘Ani ayinza okukola ekintu ng’ekyo?’ bw’atyo bw’abuuza.

‘Omusajja, omulabe oyo, ye Kamani ono omubi!’ Eseza bw’atyo bw’addamu.

Kati kabaka munyiivu nnyo. Alagira Kamani attibwe. Oluvannyuma, kabaka afuula Moluddekaayi okuba oyo amuddirira mu buyinza. Moluddekaayi akola etteeka eppya erisobozesa Abaisiraeri okwerwanako ku lunaku lwe baali ab’okuttibwa. Olw’okuba Moluddekaayi kati mukulu nnyo, abantu bangi bayamba Abaisiraeri, era bawonyezebwa okuva mu mukono gw’abalabe baabwe.

ekitabo kya Eseza.

Ebibuuzo