Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bbugwe wa Yerusaalemi

Bbugwe wa Yerusaalemi

OLUGERO 83

Bbugwe wa Yerusaalemi

LABA omulimu ogukolebwa wano. Abaisiraeri bazimba bbugwe wa Yerusaalemi. Kabaka Nebukadduneeza bwe yazikiririza Yerusaalemi emyaka nga 152 emabega, yamenya bbugwe era n’ayokya enzigi z’ekibuga. Abaisiraeri tebaazimbirawo bbugwe oyo nga baakakomawo okuva e Babulooni.

Olowooza abantu babadde bawulira batya okubeera wano emyaka gino gyonna ng’ekibuga kyabwe tekyetooloddwa bbugwe? Babadde bawulira nga tebalina bukuumi. Abalabe baabwe bandibadde basobola okubalumba. Naye kati omusajja ono ayitibwa Nekkemiya ayamba abantu okuddamu okuzimba bbugwe. Omanyi Nekkemiya y’ani?

Nekkemiya Muisiraeri ava mu kibuga Susani, Moluddekaayi ne Eseza gye babeera. Nekkemiya yakoleranga mu lubiri lwa kabaka, n’olwekyo ayinza okuba yali mukwano gwa Moluddekaayi ne Kkwini Eseza. Naye Baibuli tegamba nti Nekkemiya yakolerako mwami wa Eseza, Kabaka Akaswero. Yakolera kabaka eyaddako, Kabaka Alutagizerugizi.

Jjukira nti, Alutagizerugizi ye kabaka omulungi eyawa Ezera ssente nnyingi ze yatwala e Yerusaalemi okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. Naye Ezera teyazimba bbugwe w’ekibuga eyali amenyese. Ka tulabe engeri gye kyajjamu Nekkemiya n’asobola okukola omulimu guno.

Waakayitawo emyaka 13 okuva Alutagizerugizi bwe yawa Ezera ssente ez’okuzimba yeekaalu. Nekkemiya kati ye musenero wa Kabaka Alutagizerugizi. Kino kitegeeza nti y’aweereza kabaka omwenge, era n’akakasa nti tewali n’omu agezaako kuwa kabaka butwa. Guno mulimu mukulu nnyo.

Lumu, muganda wa Nekkemiya ayitibwa Kanani n’abasajja abalala okuva mu nsi y’e Isiraeri bajja okukyalira Nekkemiya. Bamubuulira ebizibu Abaisiraeri bye balina, era nti ne bbugwe wa Yerusaalemi akyali mumenyefu. Kino kinakuwaza nnyo Nekkemiya, era akiteeka mu kusaba eri Yakuwa.

Lumu kabaka alaba nga Nekkemiya munakuwavu era abuuza: ‘Lwaki oli munakuwavu?’ Nekkemiya amugamba nti lwa kuba Yerusaalemi kiri mu mbeera mbi era ne bbugwe mumenyefu. ‘Kiki ky’oyagala,’ bw’atyo kabaka bw’abuuza.

‘Nzikkiriza ŋŋende e Yerusaalemi,’ Nekkemiya bw’atyo bw’agamba, ‘nsobole okuzzaawo bbugwe.’ Kabaka Alutagizerugizi wa kisa nnyo. Akkiriza Nekkemiya okugenda, era amuyamba okufuna emiti egy’okuzimbisa. Mangu ddala nga Nekkemiya atuuse e Yerusaalemi, abuulira abantu ku nteekateeka ze. Basanyukira ekirowoozo ekyo, era bagamba: ‘Tutandike okuzimba.’

Abalabe b’Abaisiraeri bwe balaba nga bbugwe azimbibwa, bagamba: ‘Tujja kugenda tubatte, era tukomye omulimu gw’okuzimba.’ Naye Nekkemiya awulira ebigambo byabwe era awa abakozi ebitala n’amafumu. Era abagamba: ‘Temutya balabe bafe. Mulwanirire baganda bammwe, abaana bammwe, bakazi bammwe, era n’ennyumba zammwe.’

Abantu bazira nnyo. Baba beetegefu n’eby’okulwanyisa byabwe emisana n’ekiro, era beeyongera okuzimba. Mu nnaku 52 zokka, bbugwe amalirizibwa. Kati abantu bawulira obukuumi mu kibuga. Nekkemiya ne Ezera bayigiriza abantu amateeka ga Katonda, era abantu basanyufu.

Naye era ebintu tebiringa bwe byali ng’Abaisiraeri tebannatwalibwa mu buwambe e Babulooni. Abantu bafugibwa kabaka wa Buperusi era bateekwa okumuweereza. Naye Yakuwa asuubiza nti ajja kutuma kabaka omuppya, era nti kabaka oyo ajja kuleetera abantu emirembe. Kabaka oyo y’ani? Anaaleeta atya emirembe ku nsi? Wayitawo emyaka nga 450 ng’ebisingawo ku bino tebinnamanyibwa. Awo ne wabaawo okuzaalibwa kw’omwana okukulu ennyo. Naye olwo lugero lulala.

Nekkemiya essuula 1 okutuuka ku 6.

Ebibuuzo