Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Okuzaalibwa kwa Yesu Okutuuka ku Kufa Kwe

Okuzaalibwa kwa Yesu Okutuuka ku Kufa Kwe

EKITUNDU 6

Okuzaalibwa kwa Yesu Okutuuka ku Kufa Kwe

Malayika Gabulyeri yatumibwa eri omuwala ayitibwa Malyamu. Yamugamba nti ajja kuzaala omwana ow’okufuga nga kabaka emirembe gyonna. Omwana, Yesu, yazaalirwa mu kisibo, abasumba gye bajja okumukyalira. Oluvannyuma emmunyeenye yakulembera abasajja okuva e Buvanjuba okutuuka ku mwana ono omuto. Tumanya eyabaleetera okulaba emmunyeenye eyo, era n’engeri Yesu gye yawonyezebwamu okuttibwa.

Ekiddako, tulaba Yesu, nga wa myaka 12 ng’ayogera n’abayigiriza mu yeekaalu. Emyaka kkumi na munaana oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yabatizibwa, era n’atandika omulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza Obwakabaka Katonda gwe yamutuma okukola ku nsi. Okumuyamba okukola omulimu guno Yesu yalonda abasajja 12 era n’abafuula abatume be.

Yesu era yakola eby’amagero bingi. Yaliisa enkumi n’enkumi z’abantu ebyennyanja bitono nnyo wamu n’emigaati mitono nnyo. Yawonya abalwadde era n’azuukiza n’abafu. Mu nkomerero tuyiga ebintu bingi ebyatuuka ku Yesu mu nnaku z’obulamu bwe ezaasembayo, era n’engeri gye yattibwamu. Yesu yabuulira okumala emyaka ng’esatu n’ekitundu, n’olwekyo EKITUNDU 6 kikwata ku kiseera kya myaka nga 34.